Politics

Ibun Hamis Islamic ss bayitidde waggulu mubya S.4

Libadde sanyu lyoka kusomero lya Ibun Hamis Islamic secondary school e Matuga Kigogwa nga bananyini somero lino ,abasomesa wamu nabazadde nga bajaganya nokwebaza Allah olwobuwanguzi bwebatuseko oluvanyuma lw’ebigezo bya S.4 okukomawo nga nabyo babiyitidde waggulu ddala.

Bano bebaziza Allah olwobuwanguzi nebyamagero byabakoledde omwaka guno nga gutandika. Batuuza abayizi 39 nga 16 bayitidde muddala lisoka ate 23 nebayitira muddala elyokubiri.

Ba Directors ba Ibun Hamis Islamic secondary school e Kigogwa Matuga nga bakulembeddwamu Sheik Amir Katudde wamu Ne Sheik Siraje Kasirye bebazizza Allah olwekkula lino nebagamba nti enkola ya e-Learning gyebatongoza kusomero lyabwe ebayambye kinene nnyo mukukola obulungi ebigezo bya S.4 wamu nebya Idadi ne Thanawi wamu nebya Shuubah.

Abayizi e 16 abasinze banabwe kuliko Wangi Abdallah 15,Muwanguzi Tonny 23,Nagujja Swaburah 26,Galiwango Asadu 29,Kakande Abdul Hakim 24,Nakazzi Joweria Kizito 30,Namuddu Akram 22,Ndagire Jamirah 31,Kisakye Umaru 26,Naggayi hudah 31,Nakyanzi Shatinah 30,Kibowa Rashid 29,Kasirye Kauthara 29,Bulyaba Mariam 32,Bukenya Swidiki 32 Ne Mubiru Rayan 28.

Kinajukilwa nti nemubigezo bya Idadi ne Thanawi ebyakafulumizibwa gyebuvuddeko, Ibun Hamis Islamic secondary school yeyasinga mu ggwanga lyonna kumitendera gyonna ogwa Idadi ne Thanawi era omuyizi Kajoba Rayan Amir Katudde okuva ku Ibun Hamis yeyasinga muggwanga mubigezo byeddini ate Basirika Husina Amir Katudde yeyasinga abawala bonna mugwanga era okuva kusomero lyerimu.

Bya Ismail Tenywa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *