Politics

Aba Ibun Masood High School-Kibiri bajaganya olwokuyita ebya Idaadi ne Thanawi.

Oluvanyuma lw’ekitogole ekivunayizibwa ku bigezo eby’ediini ku mutendera gwa Idaadi ne Thanawi ku kitebe kya Old Kampala ekya (ITEBU) okufulumya ebyava mu bigezo bya 2023 ku mitendera gyombi, esomero lya Ibun Masood lyerimu kwago agakulembedemu okukola ebigezo bino obulungi.

Esomero lya Ibun Masood High School erisangibwa e’Kibiri kuluguudo lw’ebusabala lyatuuza abaana 27 nga abaana 10 bayitidde mu ddala lisooka ate nga abalala nabo bakoze bulungi era tewali yagudde.

Omuyizi eeyasinze banne bonna ku somero lino Imran Siraje yebazizza abazadde abwaayo kyebalina okubaweerera saako nabasomesa abagezaako kyebasobola okubawa ekimala.

Ono era akubiriza bayizi banne okufaayo ennyo n’obtagwamu maanyi mwebyo byebasoma nga nabo bajja kutuuka ku buwanguzi.

Omukulu w’esomero lino Abas Badru Kasekende yebazizza abazadde abewaayo nebaweerera abaana bano ku kasente akokusonda era neyebaza nabasomesa abafaayo okukola omulimu gwabwe.

Ono agamba nti ebimu kubyebateekako essira kwekufuna abasomesa abakugubmukyebakola era byebibala byebakungula musomero lyabwe.

Bya Ssali Nasif

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *