Politics

Ebya İdaadi ne Thanawi 2023 Bifulumiziddwa-Abayise bajjaganya

Ekitongole ekivunanyizibwa ku bigezo by’obusiraamu mu ggwanga wansi wa Kampala mukadde, ekya Idaad and Thanawi Examinations Board Uganda, (ITEBU), kifulumizza ebyava mu bibuuzo by’abayizi ku mutendera gwa ‘Senior’ ey’okuna n’ey’omukaaga, ebyakolebwa omwaka oguwedde, ng’abayizi ebitundu 94% bayise ebigezo ate abalala ebitundu 5% baabigudde.

Abayizi abalenzi baakize ku bawala mu kukola obulungi ebibuuzo bino, ng’abaana 2,508 okuva mu masomero 126 bebaabituula, ng’amasomero 86 g’amutendera gwa siniya ey’okuna ogumanyiddwa nga (Idaad) ate nga amalala 40 g’amutendera gwa siniya ey’omukaaga (Thanawi).

Ku mutendera gwa senior ey’okuna (Idaad), abayizi 1,883 bebewandiisa okukola ebibuuzo era abayizi 1,706 kwabo baabiyise, nga 1,165 balenzi ate 541 bawala ate abayizi 13, bbo newankubadde beewandiisa okubituula tebakola nga 11 balenzi, 2 bawala.

Ku mutendera guno, abayizi 582 bayitidde mu daala erisooka, 536 bayitidde mu daala lyakubiri, 345 bayitidde mu daala ly’akusatu nabala 243 bayitidde mu daala lyakuna.

Abayizi 159 baagudde ebibuuzo ku mutendera guno, nga 96 ku baagudde ebibuuzo baana babulenzi ate 63 bawala.

Mungeri yeemu ku mutendera gwa siniya ey’omukaaga, abaana 625 bebeewandiisa okubituula, nga kubano 595 ebibuuzo baabiyise, nga bbo abaana 6 abeewandiisa okubituula tebaasobola ate nga bonna baana balenzi.

Ku mutendera guno, abayitidde mu daala erisooka bali 332, abayitidde mu daala eryokubiri bali 135, abayitidde mu daala eryokusatu bali 85 nabalala 43 bayitidde mu daala lyakuna, ssonga abayizi 21 babigudde nga kubano 14 baana babulenzi, 7 bawala.

Bwabadde asoma ebyavudde mu bibuuzo bino, Dr. Ziad Lubanga, ssabawandiisi w’ekitongole kya Idaad and Thanawi Examinations Board mu Uganda, agambye nti ebibuuzo by’abaana 9 byebikyakwatiddwa olwokwenyigira mu kukoppa nga abaana 4 baakumutendera gwa siniya ey’okuna (Idaad) nabalala 5 baakumutendera gwa siniya ey’omukaaga (Thanawi).

Essomero lya Ibun Hamis Islamic Secondary School lyerikulembedde amalala mu kuyita ebigezo bino ku mitendera gy’ombiriri neriddirirwa essomero lya Madiina Islamic namalala negagoberera.

Essomo ly’ebyafaayo ku busiraamu lyeryasinze okukolebwa obulungi ku mutendera gwa senior ey’okuna (Idaad) neridirirwa essomo ly’oluwalabu, ebyafaayo by’ediini eno, namalala ate nga ku mutendera ogwa siniya ey’omukaaga (Thanawi), essomo ly’okusoma Quran lyeryasinze, ebyafaayo byobusiraamu nebikwata ekyokubiri, amateeka gediini naamalala negagoberera.

Shk Juma Bahkiti Ccucu, akulira ekitongole ky’eby’enjigiriza ku kitebe ky’obusiraamu ekya Old Kampala, agambye nti kyenyamiza okuwulira nti gavumenti teyagala masomero kusomesa baana byadiini nebyensi nga beekwasa nti kino kiba kyakukooya bwongo bwabaana mu kiseera ekyokusoma.

Ssabawandiisi w’ekitebe kya Uganda Muslim Supreme Council ku kiwayi kya Old Kampala, Hajji Abbasi Ssekyanzi Mulubya, agambye nti kizaamu amanyi okulaba nti abazadde bongedde amanyi n’okuyingiza abaana abawala mu masomero g’ediini n’okukola ebigezo bino ekitabaddewo, era abasabye okweyongera ne ku mitendera egyawagguluko bakole nokunonyereza okwamanyi ku busiraamu.

Abaana abawala ku mu tendera gwa siniya ey’okuna beeyongeddeko nabayizi 111 ate abalenzi 227 mumwaka guno ssonga ku mutendera ogwa siniya ey’omukaaga abawala beyongeddeko 36 nabalenzi 13 okuva ku muwendo gwabo abatuula omwaka ogwayita mu 2022.

Kusomero lya Ibun Hamis Islamic secondary school e Kigogwa Matuga nga bebasinze mu Uganda yonna kumutendera gwa Idaadi ne Thanawi bebaziza Allah olwekkula lyebatuseeko omwaka guno. Bano bakozewo Shukuru eyokwebaza Allah nga bakulembeddwamu ba Director bamasomero gano omuli sheik Amir Katudde ne Sheik Siraje Kasirye,abayizi wamu nabasomesa.

Omuyizi Kajoba Rayan Amir Katudde yasinze mu Uganda yonna mu Thanawi naddirirwa Masuba Amiinu Mudathiru okuva kusomero lyelimu elya Ibun Hamis . N’omuyizi omuwala asinze mu Uganda yonna ku Thanawi Basirika Husinah Amir Katudde avudde ku Ibun Hamis Islamic ss Matuga. Mubalala abakoze obulungi mu Uganda Najimah Kasirye era avudde ku Ibun Hamis.

Bya Ismail Tenywa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *