Education

ABA S.4 BATANDIKA NKYA EBIBUUZO EBYAKAMALIRIZO. BALABUDDWA, TUMUBBA BIGEZO.

Ekibina ekidukanya ebigezo mu gwanga kivudeyo nekitegeza nga enteekateka zona bweziwedde okubunyisa ebigezo mugwanga.
Abayizi bakutandika okutuula ebibuuzo ebyenjawulo olunaku olwenkya nga bakutandika nokubulirwa amateeka agalina okugoberwa mubigezo.

Mulukungana lwa banamawulire wano mu Kampala Nabukenya Rose Mukasa nga ono ye Examination principal official ategezeza nti omulundi guno tebasuubira muntu yena kwetaba muze gwakubba bigezo era oyo yena anakikola nakwatibwa wakuwa engasi yabukadde 40 oba kusibwa emyaka 10 oba okuwebwa ebibonerezo byombi era nga ebibonerezo bino biweebwa okusinziira muteeka erifuga ebibuuzo erya UNEB act 2021.

UNEB erina omuwendo gwabayizi abasuubirwa okutuula ebibuzo 349445 nga bano kuliko abakenzi 175923 ngabano bakola ebitundu 50.3% atenga 173522 bawala nga bano bakola 49.7% era nga bava mu masomero 3703 . abayizi 51 bakutula ebibuzo byabwe nga basinzira mukomera e Luzira upper prison.

Mungeri yemu abayizi 519 bebalina obulemu Ku mibiri gyabwe era UNEB ebagumizza nga bwe baja okuyambibwako nga enkola bwebeera bulijo nabo okusobola okukola ebigezo byabwe.

Rose asabye abakulu ba masomero obutagoba bayizi mubibiina naddala abo abakyabanjibwa ebisale bye somero, wabula nagumya amasomero nti UNEB yakubayamba okulaba nga abayizi bano ababanjibwa tebafuna bivudde mubibuzo mpaka nga basasudde sente ezibabanjibwa okuva mu masomero gabwe.

Bya SSsewanyana Ali

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *