Islamic

Aba Umoja Helping Hearts baduukiridde abe kayunga.

Ekitongole kya Umoja Helping Hearts Uganda ekikulemberwa Sheik Elias Kigozi era district kadhi wa wakiso muslim district council kidukiriide n’ebikozesebwa mubulamu obwabulijjo eri bakateyamba, bannamwandu, nabantu abaliko obulemu abawangalira mubitudu bye Kangulumira Bugerere mu district ye Kayunga.

Abantu abasoba mu 300 bebaweeredwa ebintu ebikozesebwa mubulamu obwabulijjo omuli emmere ya kawunga,sabuni,Buto,Omuccere,sukali,omunyo nengoye ezambalibwa nga bino byonna bivudde mukitongole kya Umoja wamu nemikwano gyabwe abaziira kiisa.

Omutesitesi omukulu mu Umoja helping hearts uganda Sonko Muhammad asiimye nnyo abawaayo kulwabantu abetaavu nategeza nti bangi naye nga obuyambi bubeera tebumala. Asabye buli omu okuyamba munne kukitono kyaba alina Allah mwayisiriza okutereza embeera ebeera etabanguse. Bwatyo akalatidde abantu bonna okuwagira emirimu ejikolebwa Ekitongole kyobwanakyewa ekya Umoja helping hearts kubanga bazze badukirira abantu mubitundu byegwanga ebyenjawulo.

Omu kubakulira Abaliko obulemu mukitundu kye Kangulumira Kayunga Mboga Mawazi kulwabanne asiimye nnyo sheik Elias Kigozi olwomutiima omuyambi nasaba nebotongole ebilala okulabira kubikolebwa aba Umoja olwokuba nti tebasosola mukuyamba nasaba Allah abongere obugabilizi. Attotodde nti ensangi zino olwakanyolagano kebyenfuna akaliwo basanga obuzibu okufuna ekyokulya nebikozesebwa mubalamu obwabulijo olwokuba nti buli kimu kyabuseere nasaba govt okubako kyekolawo kumiwendo gyebintu ejipaluuka buli olukya.

Ekitongole kya umoja kizze kiddukirira abantu mubitundu ebyenjawulo omuli abakosebwa amataba e Mbale,Kasese nabakosebwa enjala omuli e Karamoja, Kampala nebitundu ebilala nga kwotadde nokusibulula abasiramu mubiseera byekisiibo,okuzimbira abakadde amayumba,okulakulanya ba Imam,okugaba Zakah nemirimu emilala.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *