Politics

Abaalondeddwa ku kakiiko k’ebyokulonda basunsuddwa.

Akakiiko ka palamenti akavunanyizibwa ku kwekenneenya abantu ababeera balondeddwa omukukembeze w’eggwanga ( vetting committee) olwaleero kasunsudde abantu abatuula ku kakakiiko k’ebyokulonda abantu musanvu abaalondebwa omukulembeze w’eggwanga ennaku ntono eziyise.

Akakiiko kano nga kakulemberwa omukubiriza w’olukiiko lwegwanga olukulu Anitah Annet Among,ku bekasunsudde kubaddeko omulamuzi Simon Byabakama, Hajjati Aisha Lubega, James Peter Emorut, Stephen Tashobya, Anthony Okello, Dr. Simba Ssali ne Caroline Bainamaryo wabula nga bano oluvannyuma lw’okusunsulwa bakubye abamawulire ekimmooni bwebabalese nga bakonkomalidde wabweru wakati mu kubalindirira nga gyebayise teri ategeddeyo.

Wabula ekyewunyisiza ge mannya ga bantu abaleeteddwa okusunsulwa nga erya Robert Kasule Ssebunya Kibirige teririiko nga bwekyali ku lukalala olwasooka ngono asikiziddwa Caroline Bayinamaryo era ku lukalala oluwereddwa Palamenti nga yaaliko mukifo kya Kibirige.

Oluvannyuma twogeddeko n’ababaka abatuula kukakiiko kano era omubaka wa Bubulo East John Musira ategegezeza nti okutwaliza awamu enteekateeka zonna ezokusunsula zitambudde bulungi ngera abagamba nti zibaddemu kyekubiira
byonna abiyise bijweteke kubanga kumpi byonna ne ddiini bikiikiriddwa ku kakiiko kano

Ye omubaka omukyala owa Butambala Aisha Kabanda nga naye atuula ku kakiiko Kano agamba tebabadde bamativu nabantu abaalondeddwa era nga ayagala wabeewo enkyukakyuuka mu kulondebwa kwa bantu bano abatwala eby’okulonda.

Omulamuzi Simon Byabakama yayongeddwa ekisanja omulundi omulala okuddamu okukulembera akakiiko wakati mu bannayuganda okwogera ebitali bimu.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *