Abaana abawala mubatekeko essira- Dr. Zauja Ndifuna
Ng’abayizi abaatula siniya eyomukaaga omwaka oguwedde betegekera okwegatta kumatendekero agawaggulu,abazadde bajukiziddwa okwongera amaanyi mu murimu gw’okusomesa omwana omuwala kubanga kyekisumuluzo ky’ensi.
Omulanga guno abazadde gubakubiddwa Omusomesa omukugu era omu kuba dayirekita ba Mbogo schools Dr. Hajjat Zauja Ndifuna Matovu ng’asinzidde ku somero ly’abaana abawala bokka erya Mbogo High School kawempe Tula kumukolo gwa Duwa eyokwebaza Allah olw’okuyisa obulungi abayizi babwe aba siniya eyokuna wamu Neyomukaaga, nga ku siniya eyomukaaga Naigaga Hamuna yeyasinze banne nobubonero 19.
Dr. Zauja Ndifuna Matovu agambye nti abazadde balina okwongera amanyi mukuweerera nokufaayo eri omwana omuwala kubanga kati ensi eyaniriza basomye naddala mukisera kino nga ebisoomoza abaana abawala biyitiridde nga okubakumira mumasomero yengeri yokka eyinza okuyambako.
Omuyizi Naigaga Hamuna yeyasinze banne bonna okuva ku mbogo high school Tula nga yafunye obubonero 19 nga ono ekirooto kye ayagala kubeera Looya. Abayizi bonna bebatuuza bafunye obubonero obubasobozesa okwegatta ku matendekero agawaggulu.
Dr Zauja Ndifuna Matovu awabudde abazadde abakomya abaana kudaala lya siniya eyokuna ,nasaba abalina obusobozi okwerekereza abaana bano wakiri bamaleko siniya eyomukaaga kubanga omwana abeera awonyezeddwa okwetolola nokutwaala obudde obungi bwebamala mukusoma.Omukolo guno ogwa Duwa eyokwebaza Allah gukulembeddwamu Sheik Hadadi Yusuf.
Omukulu w’esomero lya Mbogo High School Kawempe Tula Hajjat Maka Zainab Kakeeto asiimye abazadde aberekereza byonna nebafayo okusomesa omwana w’eggwanga omuwala nabasaba obutaddiriza. Asiimye abayizi babwe abongedde okuwanika Mbogo high school nokujikuumira waggulu nga bayita mukola ebigezo obulungi.abasabye okweyisa obulungi kumatendekero gyebanaba bagenze wamu nobutakowa kusoma.
Bya Tenywa Ismail