Ababaka abakyala abaatulugunyizibwa kulunaku lwabe bagala ba RDC bavunaanibwe.
Ababaka abakyala ku ludda oluwabula bakaabidde amaziga mu kakiiko ka palamenti akalondoola ensonga z’obwa pulezidenti oluvanyuma lw’okujjukira engeri gye baayisibwamu nga bakuza olunaku lwa abakyala mu bitundu bya bwe eby’enjawulo.
Bano nga bakulembeddwa Joyce Baagala Ntwatwa (Mukazi/Mityana municipality) bwe baabadde balabiseeko mu kakiiko kano akakubirizibwa Jessica Ababiku(Mukazi/ Adjuman district) basabye ababaka ba pulezidenti abaalinyirira eddembe lyabwe bakubibwe mu mbuga z’amateeka nabo bafune obwenkanya.
Asinansi Nyakato(Hoima/mukazi) bw’abadde awereddwa omukisa okunnyonnyola ekyaliwo ewuwe, okwogera kusoose ne kumulema wabula nga akulukusa maziga.
Oluvannyuma annyonyodde babaka banne ku kakiiko nga bwatakyayagala kutunuulira muserikale mukazi yenna kubanga buli l’wabalaba afuna entiisa ku eb’yo ebyamutuusibwako.
Yatangaazizza nti bwe baali batwala okwemulugunya kwabwe ku minisitule y’ensonga z’omunda mu ggwanga oluvanyuma lw’abababaka ba pulezidenti(RDC) mu bitundu bya bwe okubalemesa okujaguza olunaku lw’abakyala olubeerayo nga 8 march, engeri gyebaakwatibwamu yali teweesa kitiibwa.
Ategeezezza akakiiko nti abaserikale naddala abakazi baamulekera enkwagulo ez’amaanyi nga ne gyebuli eno akyapoocca na biwundu ku mabeere.
Annyonnyodde nti Mu kitundu kye omukolo RDC yagulinnyamu eggere era okukakkana nga bakubiddwa mizibu era nebakomekkerezza nga batwaliddwa ne mu buduukulu bwa poliisi awataali kunnyonnyolwa.
Bano bategeezezza nti, emikolo egyo okugyitegeka baali baagyiteekamu obuwanana bw’ensimbi kyokka ne bwebatwala okwemulugunya kwabwe eri minisitule y’ekikula ky’abantu, minisitule y’ensonga z’omunda muggwanga , ne minisita w’ensonga z’obwa pulezident Milly Babirye Babalanda tebayanukulwanga .
Acom Joan Alobo (Mukazi/ Soroti) ategeezezza akakiiko nti newankubadde ab’ewuwe baasinza RDC Peter Pex Paak ne tiimu y eryanyi olunnaku nebalukuza emirundi ebiri naye abatuuze bawera okufaafagana ne Paak singa takyusibwa.
Ababaka okubadde Stephen Asera Itaza ( Buhaguzi East) basabye ssentebe w’akakiiko ba RDC abakwatibwako ensonga eno bayitibwe mu kakkiiko bannyonnyole gyebajja obuyinza obutulugunya abakyala naddala nga bakuza olunaku lwabwe.
Ssentebe w’akakiiko Jessica Ababiku yasuubizza nti bakusisinkana minisitule zonna gyebatwala okwemulugunya kwabwe balabe webatuuse n’oluvanyuma ensonga eno bajanjulire palamenti.
Bya Namagembe Joweria
.