Politics

Gavumenti etubuulire abantu baffe abawambibwa baliwa kyetwagala tewali kirala-Mpuuga.

Akulira oludda oluvuganya gavumenti ategeezeza nti ebiwandiiko ebibadde biremesezza gavumenti okukola ku nsonga zaabwe ezabafulumya palamenti yabikwasizza omumyuka wa sipiika era balinze kuddibwamu.

Okwogera bino, kidiridde omumyuka wa sipiika Thomas Tayebwa okutegeeza olukiiko eggulo nga bwe babaddeko mu kafubo ne Mathias Mpuuga akulira oludda oluvuganya gavumenti nabeerako bye boogerako wabula nga tebatuuse ku nzikiriziganya.

Mpuuga mu nsisinkano gyabaddemu ne bannamawulire ku palamenti, agambye nti mu ku sisinkana Tayebwa tewali kye bayongeddeko kyonna wabula yamukwasizza ebiwandiiko ekirambikka abantu abazze babuzibwawo, n’ abatulugunyizibwa

Annyonnyodde nti, omumyuka wa sipiika yamugumizza nabasaba babere bakkakamu kubanga ensonga zaabwe yazikwasizza abantu abakwatibwako ensonga zino.

Bya Namagembe Joweria.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *