Ababaka mu palamenti mukome ku bisanja bisatu muwummule.
Nga Uganda yetegekera okuweza emyaka 61 egyobweetwaze abavubuuka era nga bayizi obava mu matendekero agenjawulo nga bayita mu kibiina kyabwe ekya Rescue youth generation uganda bambalidde ababaka ba palamenti abakyeelemeza mubuyinza nga bakulembedde ebisanja ebisoba mu bisatu nga bakyayagala okudda mu 2026 nti bawummule baleke n’abavubuka nabo batwazeemu okwongera okututangaaza ebiseera by’eggwanga ebyo mumaaso.
Mose kayanja nga ye sentebe w’ekibiina kino ategezeza bannamawulire mulukugana lwabwe lwebatuziza mu kampala nti kyenyamiza okulaba nga ababaka abaludde mu palamenti bebakyasinze okuvumirira ekyobwanakyemalira ate nga nabo tebalina njawulo kwabo abelemeza mu buyinza era nga bano bagala watekebwewo ekomo ku bisanja nekumyaka egyobukulembeze kumitendera gyona okuviira ddala ku sentebe w’ekyaalo okutuuka kubwa pulesidenti.
Bano bagamba nti nga bbo abavubuka balekeddwa emabega ate nga kagenderere nadala abantu abali mu buyinza nga bwotunulira gavumenti eriko abasinga bali wagulu wa myaka 50 ate nga waliwo nabavubuka abasobola okukolera eggwanga abe myaka ejjo kyebatasobola nga wano we basabidde omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni abavubuka abafunireyo ebiffo ku lukiiko lwe olufuzi.
Abavubuka bano bakinogaanyiza nti obutaba na mirimu wano mu ggwanga kyabulabe eri omuvubuka nga n’abalina emirimu tebasasulwa musaala gumala byetaago byabwe ate nga nabalala abajirina bakozesebwa nga tebalina mabaluwa ekivirako okunyigirizibwa ku mirimu nga tebalina webaddukira kufuna bwenkanya olw’enguzi efumbekedde mu bitongole bya gavumenti.
Mungeri yemu bano balaze okunyolwa engeri gavumenti yawano jesosowazamu abagwiira kyoka nga bannansi bayo basoma era nga balina obukugu obwenjawulo nebakomekereza nga badukidde emitala wamayanja okwenonyeza ku nsimbi okusobola okwebezaawo olwokuba nti eggwanga lyabwe teribawadde mukisa kubagezesa kubiki byebasobola okukolera ensi yabwe.
Bya Namagembe Joweria