Politics

Zaake asabye palamenti emuddize ebibye byona byeyali yamugyako.

Omubaka akiikirira munisipaali ya Mityana mu lukiiko lw’eggwanga olukulu Francis Zaake awandiikidde kalaani wa palamenti nga asaba omusaala gwe gwonna n’obusiimo bimusasulwe nga komisona wa Palalmenti.

Omubaka Zaake agamba nti yamaze dda okulagira ba puliida be bawandiikire kalaani wa palamenti asse ekitiibwa mu nsala ya kkooti.

Omubaka Zaake ayagala akkirizibwe okuyingira wofiisi ye nga komisona,addizibwe mmotoka eyamuggyibwako,aweebwe ssente zamafuta, addizibwe abakuumi be era asasulwe ssente zebaali baalekayo okumusasula ko n’okumuddiza dereeva we n’omuyambi abaasalwako .

Omwogezi wa Palamenti Chris Obore bwatuukiriddwa ku nsonga eno akirizza nti kituufu bafunye ebbaluwa eno,wabula nategeeza anti ekyokuddamu kijja kusinziira ku biki bye banazuula bwebanekeneenya ensalawo ya kooti nabiki byatadde mu kusaba kwe mu baluwa eno.

Omubaka Zaake yagobwa ku bwa komisona nga alangibwa kusiiwuuka empisa bweyayogera ebigambo babaka banne byebagamba nti byali tebisaana ku sipiika wa palamenti kko ne palamenti okutwaliza awamu.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *