Politics

Abantu basattira amanda gafuuse otwanda.

Omubaka akiikirira abantu ba Mukono North Abdullah Kiwanuka Mulima Mayuni alaze obwennyamivu nti okuva president lweyayisa ekiragiro kyokuwera okwookya amanda mu bitundu by’amambuka bannayuganda bangi bali mu kusattira olwebbula ly’ebikozesebwa mu kufumba ate nga n’amanda nago gali ku buseere.

Nga ennaku z’omwezi 19 ogwokutaano president Museveni yalagira ebikolwa by’okwokya amanda mu mambuka biyimirizibwe olwembeera yokusika omuguwa eyaliyo, ng’okuva olwo wazeewo ebbula ly’amanda n’enku mu bitundu byayo ne ggwanga yonna kuba gyegasinga okuva.

Ono agamba abantu tebakyasobola kufumba kubanga amasannyalaze ne gaasi bya beeyi abamu tebabisobola wasabidde gavumenti okusaawo ekiyinza okudda mu kifo Ky’amanda okusinga okulagira obulagizi.

Minisita w’obutonde bwensi Betty Anywar agamba nga gavumenti tebatudde era baliko enkola zebaagala okuleeta eza tekinologiya era ku kino amyuuka Sipiika Thomas Tayebwa amuwadde obudde akomewo anyonnyole bulungi kino nga kiri mu buwandiike.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *