Politics

Temuva kumulamwa wadde batujeeko obuyambi-Tayebwa agumizza ababaka

Amyuka omukubiriza w’olukiiko lweggwanga olukulu Thomas Tayebwa asabye ababaka ba palamenti obutatiitiira kwekyo kyebasalawo ekyokuyisa eteeka erikugira omukwano ogwebikukujju erya Anti homosexual act 2023 kubanga kyebakola kyeekyari ekituufu era nga tebalina kwejusa olw’ensonga nti ebiriwo kati baali babisuubira okutuukawo.

Tayebwa okwongera bwati kidiridde omubaka wa Otuke county O’Mara Paul okutegeeza palamenti nga gavumenti bweyandivudeyo nga eyita mu ministry yayo eyebyensimbi nga eri awamu n’obukiiko bwa palamenti obwenjawulo omuli aka national economy,akembalirira (budget) okutema entoto butya eggwanga bwerigenda okwebezaawo oluvanyuma lwa banka yensi yona okuvaayo gyebuvudeko netegeza nga bwetagenda kudamu kuwa banna Uganda buyambi olwokuyisa eteeka erikugira obufumbo bwebikukujju.

Wano ssabaminisita w’eggwanga Robina Nabbanja Musafiri agumizza banna Uganda olw’ensonga nti bakyali mukwogerezeganya ne banka yensi yona okulaba kiki kyebasalawo ekyekomeredde era nakakasa nga Uganda bwetalina kwelalikirira kwona olw’ensonga nti balina esuubi dene nnyo mu mawanga amalala webituuka mu byokubawa obuyambi .

Yye minisita owaguno naguli mu minisitule y’ebyensimbi Henry musasizi agambye nti minisitule ebadde yakutuula olunnaku olw’enkya n’obukiiko bwa palamenti obuvunanyizibwa ku by’ensimbi obwenjawulo okwongera ku nsonga eyo naye engeri palamenti gyezeemu okutuula nayogezaayo okutuusa nga ennaku z’omwezi 1 omwezi ogujja (1/9/23).

Bya Joweria Namagembe

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *