Abasiramu mwagalane kulwa Allah okusinga ebigendererwa-Sheikh Kigozi
Abantu 15 basiramuse mu Lwengo
District kadhi wa wakiso Muslim District Council Sheik Elias Kigozi Nkagi asabye abasiramu okwagalana kulwa Allah okusinga olw’ebigendererwa.
Obubaka buno Sheik Kigozi abutuusiza bwabadde agenyiwaddeko ku kyalo Kyeyagalire mu gombolola ye Ndagwe mu disitulikiti ey’eLwengo okulambula ku basiramu mukitundu ekyo.
Sheik Kigozi asabye abasiramu okukuuma obutiribiri eby’obugagga by’obusiramu wonna webiri okusobola okulakulanya ediini yabwe. Sheik kigozi era atongoza omulimu gw’okusomesa abasiramu ba Kyeyagalire ediini yabwe nga basinziira mu muzikiti ogwazimbibwa ekitongole kyakulira ekya Umoja Helping hearts Uganda ogwagulibwawo gyebuvuddeko.
Kumukolo gwegumu sheik Elias kigozi era ayingiza abantu abawerera ddala 15 obusiramu nga abatozezza Shahada ebayingiza ediini.Kubano kubaddeko abaami 5,abakyala 7 n’ebamusayi muto 3. Oluvanyuma sheik kigozi akalatidde abasiramu b’ekitundu kino okwagazisa abayingidde eddini eno nga bayita mu kubaaniriza, okubasomesa n’okubalaga empisa z’obusiramu okusinga okubamalamu amaanyi.
Sheik Kigozi yeyamye okukwasizangako abasiramu mu kitundu kulunnaku lwa Eid n’obuyambi obwenjawulo nga ayita mukitongole kya Umoja Helping hearts n’emikwano gye. Sheik kigozi ono asiimye abantu bonna abamwegatako nga alayizibwa ku ntebe y’obwa kadhi omwezi oguwedde neyeyama obutayiwa bana wakiso.
Bya Tenywa Ismail