Education

Abasoba mu 900 batikiddwa mu masomo agenjawulo ku Namasuba college of commerce.

Ettendekero lya Namasuba College of Commerce litikkidde abayizi 903 abakuguzse mu by’enfuna, eby’obusuubuzi n’okunoonya obutale.

Gano ge matikkira g’ettenddekero lino ag’omulundi ogwe 14 nga omukolo guyindidde ku Freedom City e Namasuba.

Sheikh Elias Kigozi District Khadhi wa Wakiso Muslim district era omutandiisi wekitongole ekidukirira abantu ekya Umoja helping hearts yabadde omugenyi omukulu.

Mububaka bwe eri abatikiddwa asiimye nnyo omutandiisi wetendekero lino elya Namasuba college of commerce Dr Jamil Ssebalu olwomumuli gwakutte ogwokubangula abayiizi ebyemikono. Asabye abatikiddwa okubeera abayiiya nobutanyooma mirimu.

Abamu ku bayizi abatikiddwa.

Mungeri yemu sheik elias kigozi ono akalatidde abayiizi okubeera abatandiisi bemirimu so sabo abajinoonya. Abasibilidde entanda okubeera abamaziima,abeluufu nokwekiririzamu.

Mububaka bwe Akulira etendekero lya Namasuba college of commerce Dr hajji Jamiru Sssebalu asabye abayiizi bano abafunye amabaluwa leero okusigala nga beyiisa bulungi gyebagenze basobole okwenganga okusomozebwa kwensi eno.

Omukolo guno gwetabiddwa ne Managing director wa salam charity ne salaam tv era omu kuba director ba pearl fm Alhajji Dr Abdul Karim kaliisa, Hajjat Shania Kigozi owa One Ummah,sheik Haroona Rashid Kasangaki secretary wa union of muslim councils for East and southern Africa, aba House of Zakah uganda nabakungu abalala.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *