Politics

Abassubuzi bakusisinkana pulezidenti Museveni kumisolo.

Nga abasubuuzi  beteekerateekera okusisinkana omukulembeze w’eggwanga ,palamenti esabye minisitule y’ebyensimbi okukozesa sabiiti ebbiri ze yasabye okunoonyereza buziba  ku nsonga ezinyigiriza abasuubuzi n’okutandika okuggya ku bisolo omusolo okusobola okuwewula abasuubuzi.

Minisita w’ebyensimbi n’okutekeratekera eggwanga Matia Kasaija asabye abasuubuzi bekube mu kifuba baggulewo amadduuka baddemu okukakalabya emirimu nga gavumenti bwesala amagezi okugonjoola ensonga ezibaluma kubanga webagaleka nga maggale eggwanga liba mukufiirizibwa okutagambika. 


   
Munsisinkano jebabadde na akakiiko ka palament akalondoola ebyobusuubuzi namakolero wamu na ka akalondoola ebyensimbi okutema empenda ku kizibu kyabasuubuzi ekyo okuggala amadduuka gaabwe olwemisolo ejababinikibwa okuli ogwa Efrisi , minister webyensimbi Matia Kasaija ,minister omubeezi owebyobusuubuzi Gen. Wilson Mbadi ,Ssenkulu wekitongole ki URA John Musinguzi ko n’abakulira ebibiina byabasuubuzi.

Wano ssenkulu we kitongole ekisoloza ky’omusolo,John Musinguzi akalambidde nga enteekateeka ya EFRIS bwetali yakuvaako, okugyako kyebasuubira ekigenda okukolebwa kwekwongera amaanyi mu kusomesa abantu okutegeera enkola eno okwetolola eggwanga.

John Musinguzi atangaazizza ku ky’okubangula abasuubuzi ku nkola eya Efris nategeeza nga bwebazze bakikola nga bava dduuka ku dduuka nga kyali kyayimiriramu kaseera katono nga bwatuuse kukya App eya Efris  ku ssimu ezze yeetakuza abantu omutwe ategeezezza nga bwetaboola kika kya ssimu 

kadita eba ya seereza( smart phone) eba egendako.

Abakungu bano bwebabadde mu bukiiko buno,ye minisita omubeezi ow’ebyensimbi  n’okuteekerateekera eggwanga Amos Lugolobi yabadde okusomera palamenti alipoota kwebyo ebyatuukiddwako mu nsisinkano abasuubuzi gye babaddemu ne minisitule ku lwokubiri lwa sabiiti eno.

 Lugoloobi yagabye nti ku nsonga y’okussa omusolo ku by’amaguzi bye batunda ministry ye byensimbi esabye sabiiti bbiri esooke ekole okunoonyereza okwenjawulo n’okwebuuza ku bantu bonna abakwatibwako omuli n’abasuubuzi bennyini.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *