Politics

Victoria University bakungubagidde eyaliko “Chancellor” wabwe.

Olunaku olwaleero etendekero erya Victoria University likungubagidde eyaliko chancellor w’tendekero lino era nga yomu kubatandisi ba Victoria University Dr. Martin Jerome Okec Aliker eyavudde mubulamu bwensi.

Okusinzira ku amyuka ‘chancellor’ wa Victoria University prof. Lawrence Muganga bwabadde akulembedemu omukolo gwokungubaga ogubadde kutendekero lino erisangibwa ku Jinja road wano mu Kampala atenderezza Dr. Martin nga omusajja abadde omukozi ate nga ayagala nyo okusitula ebyenjigiriza mu ggwanga ngeera alina etafali dene lyalese atadde ku ggwanga mukisaawe ky’ebyenjigiriza saako n’emirimu emirala.

Dr. Martin Aliker yabadde chancellor owokubiri mukulembera v university eno nga era yakulembera university okuva mu mwaka gwa 2013 okutuuka mumwaka gwa 2019 weyawumula ngeera ajjakujjukirwa nga olwemiriimu jeyakolera etendekero lino.

Omukulu guno gwetabyeko abakulu banji okuva tendekero lino okubadde ne chancellor wa victorious aliiko kati prof. John Asiibo .

Ye Chancellor aliiko kati prof John Asiibo asinzidde wano nawa abayizzi bonna amagezi bulijjo okubeera abayiiya ngabatandikawo emirimu ejabwe baleme kulindanga bazadde babwe ngawano awadde ekyokulabirako ekyo omugenzi Dr. martin Aliker olwobuyiiya nobukozzi bwabaddeko ebanga lyona nga bumutusiza kubuwanguzi .

Bya Bulyaba Hamidah

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *