Abasuubuzi b’enuuni basuddewo omulimu lwa misolo.
Abasuubuzi b’enuuni amakumi 30 basobeddwa oluvanyuma lw’okusuulawo omulimu gw’okusuubula enuuni gwe babadde bamanyidde ng’ entabwe bagitadde ku misolo emingi egyibaggyibwako n’engeri abaserikale gye bayisaamu abavubi ku myalo.
Abamu ku basuubuzi abagambibwa okuba abaali aba maanyi ne bagwa kuliko Bisoboka Constant, Moses Murinzi, Gasama & Son company Ltd n’abalala.
Bino bya tegeezeddwa Justine Ssennungi ssentebe w’ekibiina ekitaba abasuubuzi b’e nuuni ki Fish Maws & Traders Association Uganda Ltd bwe babadde balabiseeko mu kakiiko ka palamenti akalondoola eby’obulimi mu ggwanga okuwuliriza ensonga zaabwe nga bwe baali bawayo okusaba kwabwe eri sipiika wa palamenti mu July w’omwaka guno
Ssennungi yannyonnyodde ababaka kukakiiko nti ekibiina kyabwe kimaze emyaka egyisoba mu 13 era nga kyalimu abasuubuzi amakumi 50 nga gye buli eno omulimu bagusigaddemu abantu amakumi 30 gokka
Kino yakitadde ku misolo egyiyitiridde egyabateekebwako gavumenti omuli n’ ogw’ebitundu 8 ku buli kikumi ku nnuuni gye bafulumya ebweru w’eggwanga.
Emisolo emirala gye baalaze okuyita mu kiwandiiko kyabwe ekyasomeddwa ssaabawandiisi w’ekibiina Simon Musana , kuliko emitwalo 20,000 egyibaggyibwako ku buli kkiro ye nuuni abaserikale ab’ekebejja ennuuni ze babagyako buli webatuukira, emitwalo 100,000 gyebawa ekitongole ki UNBS ekivunaanyizibwa okwekebejja omutindo gw’amaguzi, satificate y’ebyobulamu (Individual health certificate) gye basasulira emitwalo 20,000 buli mwezi, ekiwandiiko ekibakkirizza okukola omulimu ogwo kye basasula emitwalo 200, 000/= buli mwaka ( certificate of public health and environment) n’emirala
Ku nsonga eno, baasabye omusolo gwe basasula ogw’ebitundu 8 ku buli kikumi gussibwe basasule nga doola 2.5 zokka kibasobozese okusigla mu mulimu, ne gavumenti okusigala nga efuna omusolo .
Mungeri yemu, bawanjagidde gavumenti okubataasa ku nsonga ya katale, oluvanyuma lw’okunnyonnyola akaiiko nti emmaali yabwe okugyituusa e China, erina kuyita mu Hong Cong olw’okuba gavumenti terina nkolagana na ggwanga lino era nga tebakkirizibwa kuweereza bya maguzi bya bwe butereevu
Kino yagambye nti kibaviirako okufiirizibwa kubanga ebyamaguzi bya bwe mu china babifuna nga bya Hong Cong ate nga oluusi bituuka bya kitudu
Ababaka okuli Charles Tebandeke( musajja /Kayunga district), Suzan Mugabi ( Mukazi/Buvuma) basabye gavumenti obutabalaatira mu nsonga eno kubanga yandiviirako amawanga agatuliraanye okutwala akatale kaffe oluvanyuma lw’okutegeeza nti bo omusolo ku nuuni ewabwe gwa kigero era mulambulukufu
Ssentebe w’akakiiko kano , Janet Grace Okori Moe (Mukazi/ Abim) yagumizza abasuubuzi bano nti oluvanyuma lw’okunoonyereza ensonga yabwe baakujanjulira palamenti esalewo ekyenkomeredde.
Bya Namagembe Joweria