Local

Abatuuze abaasendebwa Katushabe, bakuliyirirwa gavumenti.

Gavumenti esuubizza okuliyirira abatuuze b’eNamasale mu disitulikiti eye Amolatar abaafiirwa ebintu byabwe oluvanyuma lw’omukyala Juliet Katushabe ng’aliwamu ne OC w’ekitundu okukozesa eryaanyi erisukkiridde nebabayonoonera ebintu omwali n’okubayokyera amayumba.

Mu mwezi gw’omusanvu nga 16, amawanga abiri okuli Abaluuli n’abalango mu disitulikiti eye Amolatar basoomozebwa oluvanyuma lwa Katushabe okukozeza ab’ebyokwerinda okubasindiikiriza okuva ku bugazi bw’ettaka yiika kikumi kwebabadde bawangaalira ng’abalagira okulyamuka nti kubanga balisengako mu bumenyi bwamateeka nga lyali lya kitaawe Kaweki Nafutali abatuuze gwebagamba nti tebamumanyi.

Kino ky’awaliriza omubaka wa Nakasongola disitulikiti, Noah Mutebi Wanzala okwekubira enduulu mu offiisi ya katikkiro wa Uganda Robinah Nabbanja okuyingira mu nsonga eyo wakati mu kutya nti n’abenganda zaabwe abawangaalira mu Amolatar lwandibatwaliramu era nga babadde bateeseteese okulaga obutali bumativu bwabwe ng’ennaku z’omwezi 9 August singa gavumenti ebadde tevuddeyo.

Mu lukungaana lwa bannamawulire olutuuziddwa ku palamenti, katikkiro wa Uganda nga akiikiriddwa minisita wa gavumenti ez’ebitundu Raphael Magyezi akakasiza obutabanguko obwaliwo mu tawuni kanso y’eNamasale era nakakasa nti bwava ku Katushabe wamu ne OC w’ekitundu ategeerekese nga ASP Kule.

Magyezi agambye nti, si bakukkiriziganya n’ekikolwa eky’okugobaganya abantu kubanga bakizudde nti ku ttaka kuno kutuddeko famire ezisoba mu 120, amassomero, amalwaliro,akatale nga n’ekisinga okw’enyamiza ne ssentebe w’ekitundu kwawangaalira.

Mu lukiiko olwatuuziddwa ku offiisi ya Kattikkiro ku lwokuna omwabadde abakulembeze b’enjuuyi zonna , Magyezi agambye nti kyazuuliddwa nga omukyala ono yandiba nga abaza kubba gavumenti kubanga erina enteekateeka ezimbayo oluguudo oluppya so nga waliyo n’ebyobugagga nga amafuta n’omunnyo

Asabye abatuuze okusigala nga bakakkamu n’abe Nakasongola okusazaamu okwekalakaasa kwebabadde bategese nga bwebanoonyereza ku Katushabe n’abazzi b’emisango abalala b’enyigira mu kubalumya

Alagidde omubaka wa pulezidenti mu kitundu ekyo okukola okunoonyereza okwenjawulo ku bantu bonna abafiirwa ebyabwe mu njega eno basobole okuliyirirwa

Yye Wanzala ategeezeza nti , kebakitegedde nti okulwanagana kuno tekwali wakati wa Baluuli n’abalango, nga abakulembeze bagenda kulwana bukubirire okulaba ng’ebitundu ebyo bitebenkera, awabudde abe Nakasongola okukuuma eddembe kubanga ensonga yabwe ekolebwako.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *