Local

Ekisaawe ky’ennyonyi kiri mu mbeera mbi ddala.

Ababaka ku kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku kulondoola omutindo gw’enguudo n’ebizimbe kalaze obweralikirivu olwebeera ekisaawe ky’ennyonyi eky’eggwanga eky’eNtebbe mwe kiri gyebagamba nti si yamutindo.

Bano bwebabadde basisinkanye ekitongole kino ekya “Civil Aviation Authority” mu lukiiko olukubiriziddwa omubaka wa Kazo constinuency Dan Kimosho Atwijukire, ababaka okubadde Fred Kayongo (Mukono south)Roland Ndyomugyenyi ( Rukiga constituency) Sarah Opendi ( mukazi/ Tororo district) n’abalala balaze okunyolwa olw’embeera gyebagamba etali ya mutindo naddala eri abo abakozesa ekisaawe kino nebalaga nti yandiviirako eggwanga okufiirwa mu ngeri y’omusolo.

Kimosho alagidde Fred Bamwesigye akulira ekitongole kino wamu ne yinginiya Ayub Sooma okunnyonnyola akakiiko ekiviirako amasanyalaze ku kisaawe okuvangako olutatadde saako ekiviirako lifuti okukankana n’ebimu ku bizimbe bye bagamba nti kati bifuuse byabulabe eri bannayuganda kubanga bizeemu enjatika ate nga ne mundabika tebisikiriza

Bamwesigye mukwanukula ategeezeza akakiiko nti, ekimu ku bizimbe ekitali mu mbeera nnungi ky’ekyo abantu mwebayingirira ( terminal building) wabula ensonga gyawadde nti kikadde kubanga kyazimbibwa mu 1972 nga kyalina okubaamu abantu emitwalo 250000 nga wetwogerera kati bali mu bukadde 2.


Ku nsonga eno asabye ebitongole bya gavumenti eby’enjawulo okuyita mu minisitule y’ebyensimbi okubasasula obuwumbi bw’ensimbi 108 bwe babanja n’okuwagirwa mu ngeri ez’enjawulo basobole okuzimba ebizimbe ebippya kubanga ebiriwo nkola nkadde ng’okubidaabiriza kiyinza obutamala.

Ategeezeza nti bakyetaaga ettaka ddene okugaziya ekisaawe kubanga “hectares” e’77 ze baabawa baazikozesa okutereeza ennyonyi wezibuukira, okuzimbako ekifo emiguggu w’egiteekebwa(cargo centre), n’ebirala.

Yinginiya Sooma akakasiza ababaka nga bwebagezezaako okudaabiriza endabika y’ebizimbe bino nga babisiiga langi ate ku kya lifuuti agambye nti waliwo obwetaavu bwa genereeta eza’amaanyi ezisinga kwezo zebalina nga ekikyazisibye okuteekebwawo ze ssente zebagamba nti tebazirina.

Olw’okuba ekisaawe kino kituukirako abagenyi ab’enjawulo, ssentebe Kimosho ategeezeza nti ensonga eno baakugitunuza mu sipiika w’eggwanga Anita Annet Among okutema empenda ku ngeri gyebayinza okukwatamu.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *