Abazadde bakubiriziddwa okusabira abaana babwe mu kiseera kino ekyebigezo.
Abazadde Musabire nnyo Abana- Ndejje Quality school.
Nga abayizi abekibiina eky’omusanvu basemberedde okukola ebigezo byabwe eby’akamalirizo ebya P.L.E 2023 bajukiziddwa okweteekateeka obulungi wamu nokwesigamira Allah.
Buno bwebubadde obubaka bwa sheik Twahir Kasadha akulira ekitongole ky’obwanakyewa ekya Haramaini Foundation bwabadde omugenyi omukulu kusomero lya Ndejje Quality school e’Kitiko mutungo mu gombolola ya Ndejje mu district ye Wakiso kumukolo gw’okusabira abayizi abawerera ddala 32 abagenda okukola ebigezo byabwe okutandiika ne sabiti egya.
Sheik Kasadha abuliridde abayizi bano obutagezako kulimbibwa kukopa bigezo kubanga kyabulabe gyebali. Abasabye okussa obwesige bwonna mu Allah abawanguze.
Abayizi b’ekibina ky’omusanvu bakutandika ebigezo byabwe kulw’okusatu lwa week egya nga 7 n’essomo ly’okuteekebwateekebwa olwo enkeera nga 8 paka nga 9 omwezi guno og’wekumi n’ogumu 2023 bawandiike ebigezo byabwe.
Director wamasomero ga Ndejje Quality Schools e Kitiko Mutungo Sheik Sulaiman Ahamada Nuwagaba Rwomushana agambye nti abayizi babwe bateekedwateekedwa bulungi ddala nga bulijjo era basuubira kujjaganya nga ebigezo bikomyewo nga buli mwaka bwebakola obulungi. Asiimye abazadde beggwanga bonna abewaddeyo okuwerera abana b’eggwanga nabasaba obutakoowa. Akalatidde abazadde okukuuma abana obulungi muluwummula luno lwebagendamu oluwanvu kubanga amalindirizi mangi n’emize emikyamu.
Omukolo guno gwetabiddwako Alhajji Hakim Barine omusuubuzi omututumufu ow’omu Kampala, Hajji Musa Buwembo ne Imam w’omukizikiti gwe Kitiko Sheik Salim Ssebyala.
Bya Ismail Tenywa.