Politics

Gavumenti esabiddwa okwongera ku nsimbi zeteeka ku bakadde.

Ekitongole ekirabirira abakadde n’abaana abatalina mwasirizi eky’obwanakyewa ekya JEFOA, kikubidde Gavumenti n’ebitongole by’ebwanakyewa omulanga okubongera kubuyambi n’obuvujirizi obw’enjawulo okusobola okulabirira abakadde.

Mukwogerako eri banamawulire kunteekateeka etegekeddwa okuwa abakadde eby’okukozesa ng’ennaku zomwezi 4 omwezi guno mu Disitulikiti y’eKayunga e’Kyerimya, Eric Mwesigye ategezeza nti mukitongole kino balina abakadde abasoba mu 355 bebalabirira mukiseera kino nasaba bona abalina obusobozi okubeyungako naddala mu buyambi bw’ensimbi.

Wano wasinzidde neyebaza Gavumenti olw’enteekateeka eyaletebwa okuyamba kubakadde n’okubawa omwaganya okufuna ababatuusiza esonga zabwe mu Palamenti.

Bya Kasekende Francis

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *