Ab’oludda oluvuganya basabidde abantu babwe ku Juma.
Ab’oludda oluvuganya gavumenti nga bakulembeddwamu abakulira Mathais Mpuuga Nsamba betabye mu kusaala okwaleero (Juma) nga basabira emyoyo gyabanabwe abafiira mu by’obufuzi, naabo abasibwa nga tebalina misango naddala abasiramu abakyali mu makomera kwosa nabawambibwa nga bagamba nti bweba gavumenti eremeddwa okubaako kyekolawo basazewo ensonga bazitwale eri mukama katonda atalemererwa.
Edduwa ekulembeddwamu sheikh Ahemd Hamuzah Ibrahim okuva e’Bombo ono asabye abasiramu bayisibwe kyenkanyi wano mu ggwanga era nti wewabawo akoze ekintu bamuvunaane nga yye baleke kumukwata nga basiramu bona.
Wano akulira oludda oluvuganya gavumenti Mathais Mpuuga Nsamba akubirizza abantu bonna okusitukiramu okulwanyisa ebikolwa ebityobola eddembe ly’abantu nadala kuludda lwabasiramu abasibibwa obwemage.
Ono ategezeza nti nga enkya jiwera emyaka 3 nga abantu babwe abasoba mukumi bava mubulamu bwensi olw’ensonga ezekuusa kuby’obufuzi basazewo bakyalire amasinzizo ag’enjawulo nga basabira abagenzi yagambye nti yemu kunkola gye baleese era nga batandikidde mu basiramu bwe balabikiddeko mu kusaala Juma ku muzikitti gwa palamenti .
Bya Namagembe Joweria