Politics

Mpuuga atabukidde ababaka abatandise okuva kubiragiro byeyatekawo.

Akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti Mathais Mpuuga Nsamba anaabidde mu maaso bakyewaggula abali kuludda lw’atwala abatandise okuva ku biragiro bye nti kyekiseera baveeyo balage bannayuganda wa webagwa awatuufu baleme kufuuka kirumira mpuyi bbiri.

Mpuuga okwogera bino, kidiridde abamu ku babaka b’atwala okudda muntuula za palamenti nga tebasoose kumwebuzaako ate nga bano bali baazira dda entuula za palamenti n’okutuusa kati nga bakyakalambidde obutava ku nsonga ezabafulumya palamenti okutuusa nga gavumenti evudeyo nebaanukula ku bintu byebajibanjja nga okubuzibwawo kwa bawagizi babwe,okulinyirira eddembe lyabannayuganda ery’obuntu,okutta abantu abakwatibwa awatali misango nebirala.

Ono bwabadde ayogerako ne banamawulire ku palamenti agambye nti kulwokubiri lwa sabiiti egya wakuyita bannampala b’ebibiina ebirala bagye bannyonyole eggwanga wa webayimiridde babafunire yafeesi endala.

Ku nsonga ya sipiika Annet Anita Among gyeyayogerako sabiiti eno nti wakutandika okugoba ababaka ba palamenti abebulakanya entuula 15 Mpuuga ategezeza nga bbo ab’oludda oluvuganya tebalina kyebatidde.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *