Education

Amyuuka omwogezi wa Police Luke Owoyesigyire Asabye abazadde nabasomesa okwagazissa abaana ensi yaabwe

Amyuuka omwogezi wa police mu Kamapala n’emiriraano Luke Owoyesigyire asabye abazadde wamu namasomero gonna okwagazisa abaana babwe okwagala ensi yaabwe kubanga kyekigenda okubafuula abakulembeze abalungi ab’enkya.

Owoyesigyire okwogera bino abadde omugenyi omukulu kusomero lya Ndejje Quality Schools e Kitiko Mutungo mu district y’eWakiso ku mukolo gw’olunaku lw’ebyemizannyo musomero lino wamu n’okubayigiriza okwagala ensi yaabwe abayizi mwebavuganyirizza mu mizanyo egyenjawulo omuli emisinde, okubaka,okuyiga okufumba,okukumba,dduyiro,okukuba bandi, n’emizanyo emirala.

Owoyesigyire asinzidde wano nakuutira abazadde,nabuli muntu yenna okugatta amaloboozi okuvumirira n’okulwanyisa ebisiyaga ebyagala okutandika okusaasana muggwanga wamu nokozesa ebilagalalagala, agambye nti abazadde bwebanasuulirira obuvunanyizibwa bwabwe eri abaana emize emikyaamu gigenda kweyongera okusaasaana mubamusaayi muto.

Ono asoose kulambula nyiriri z’abayizi ba Ndejje Quality school,bwebadde boolesa butya bwebayinza okukuuma n’okwagala eggwanga lyabwe nga bakuuma obutebenkenvu.

Yye omukulu w’amasomero ga Ndejje quality schools e ndejje ne kitiko Mutungo Sheikh Sulaiman Ahmada Nuwagaba Rwomushana agambye nti olunaku luno balukola n’ekigendererwa ky’okwagazisa abaana ensi yaabwe wamu n’okutumbula ebitone mu bayizi,okubawumuzza mu bwongo nokubafuula abayiiya.

Abayizi bano bavuganyirizza mumayumba gabwe agenjawulo omuli,Bravo, Awesome, Super star ne Trupa.Omukolo guno gwetabiddwako n’akwanaganya police n’omuntu wabulijjo mu kajjansi Afande mukombe Steven n’abakungu abalala.

Bya Tenywa Ismail Kabangala

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *