Amyuuka Sipiika Tayebwa yegaanye ebyokumenya ssemateeka
Amyuuka omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu Thomas Tayebwa Bangirana assambazze ebimwogerwako nti yyekenyini n’omukubiriza w’olukiiko lw’egwanga olukulu Anitah Annet Among baavuluze ssemateeka bwebetabye mukwaniriza munamaggye akyaweereza eggwanga General Muhoozi Kainerugaba mu nsonga z’ebyobufuzi ekintu ekimenya amateeka.
olunaku olwa Sunday n’olunaku olwa Monday sabiiti eno Sipiika Anita Annet Among yabadde n’okwebaza katonda mu district ye Bukedea ng’era omukolo guno gwetabiddwako abantu bangi okuli ababaka ba palamenti abenjawulo,ba minisita ba gavumenti abatali bamu,bannaddini,abalonzi ng’era nemunamaggye Muhoozi Kainerugaba yoomu kwabo abetabye kumukolo guno.
Kati Sipiika okuvaayo okulungamya kunsonga eno kizze oluvanyuma lw’omubaka wa Kira municipality Ibrahim Ssemujju Nganda okuvaayo nalaga okwennyammira eri Palamenti nti ekikolwa ekyakoleddwa abakulembeze ba palamenti kiswaza ekitiibwa Kya Palamenti.
Kati mukumwanukula omumyuuka womukubiriza wolukiiko lw’eggwanga Thomas Tayebwa alambuludde nti abantu bakifunye mungeri yakifuula nnenge ngawabula bbo babadde mukwebaza mutonzi olwokutuusa Sipiika kubuwanguzi bwaliko ng’era Muhoozi naye yayitiddwa ngabantu abarala.
Bya Namagembe Joweria