Politics

“Annual National youth Festival” ey’omulundi ogw’omwenda ekomekerezeddwa.

Olukungaana lw’abavubuka olw’omulundi ogw’omwenda olwa ‘Annual National Youth Festival’ olw’omwaka 2023 lukomekerezeddwa.

Olukungana luno Lutegekebwa ekitongole ky’abavubuka ekya Open Space buli mwaka nga ebikujjuko by’omwaka guno bikwatiddwa ku Akamwesi Gardens E’Kyebando mu Kawempe Oluvanyuma lw’emyaka esatu nga telutuuzibwa olw’ekirwadde Kya Covid-19 ekyakosa ennyo eggwanga Uganda n’ensi yonna.

Mubikujjuko bino abavubuka bawebwa omukiisa okwolesa ebyo byebakola kubwerere wamu n’abo abagala okuyiga okuwebwa omwaganya okuyiga n’okwebuuza kubamanyi, okusobola okwekulakulanya n’okutondawo emirimu ejisobola okuvaamu ensimbi. Olukungaana luno era lusomesa abavubuka kungeri entuufu ey’okwenyigira mubukulembeze obutaliimu kuvvola wadde okukakkanya omulala.

Abavubuka abasoba mu 2500 okuva mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo omuli n’abaliko obulemu,bebetabye mubikujjuko by’abavubuka bano era basiimye ekitongole Kya Open Space olw’enteekateeka eno nti ebayamba nnyo okwekiririzamu,okwezuula wamu n’okuyiga ebintu ebyenjawulo.

Ebimu kubintu ebyoleseddwa mulimu okubaganya ebirowoozo, okukola ku Radio ne Tv, eddagala ly’obutonde,abatunga,okukanika,abakamula Juice n’ebilala. Olukungana luno lwetabiddwamu abantu abenjawulo omuli abakulembeze kumitendera gyonna muli banabyabufuzi,bannaddini,abavubuka n’abalala.

Wakibu Buunya akulira ekitongole kya Open space asiimye abavujilizi abatadde ssente mu ttabamiruka w’abavubuka omuli US Mission Uganda,NGO forum,Crossing Borders, Electrol Commission n’ebirala.

Ashiraf Sharaf Kakaire akwanaganya emirimu mukitongole kino atunyonyodde nti abavubuka bangi baganyuddwa mubikujjuko bino era nawa esuubi nti bangi kubavubuka bafunye obukuggu mubintu ebyenjawulo.

Ashiraf kakaire agambye nti ebimu kubisibye abavubuka mubwavu kwekunyooma emirimu n’obutekiririzamu n’abasaba okwezula n’okwekiririzamu.

Bya Tenywa Ismail.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *