Politics

Abawalimu mulekere awo okwekkakanya- Hajji Kaliisa.

.

Ssenkulu wa Salam Tv ne Salam Charity era omu kubatandisi ba Pearl fm Al-Hajji Abdul Karim Kaliisa avumiridde ebikolwa ebiri mubawalimu ensangi zino eby’okwevuma n’okwekkakanya kyagambye nti kityoboola n’okukkakanya ekitiibwa ky’obusiramu.

Al-hajji Abdul Karim Kaliisa okwogera bino asinzidde ku Masjid Kabunga e’Mulago kubbiri mu Kamapala mukusaala Jumah wamu n’okukungaanya ensimbi z’okuzimba masjid Nakaloke e’Mbale.

Hajji karim agambye nti ebikolwa ebifanaganako bwebiti sibyamubusiramu wadde era ba Sheik balina okunonya engeri endala ey’okugonjoola obutakkanya wakati wabwe okusinga okudda mulujjudde nemu camera.

Mukusaala Jumah yaleero ekulembeddwamu Sheik Hamza Bukhar nga abuliridde abasiramu kubukulu obuli mukuwaayo n’okuyambagana nategeza nti yali nkola yamubaka buli omu okukwasizaako munne naddala abeesobola okuyamba kwabo abatalina olwo Allah asobole okubakuumira byebalina.

Sheik Bukhar takomye okwo annyonyodde nti buvunanyizibwa bw’abasiramu okwekolamu omulimu okwekulakulanya n’okuzimba ebiffo byaffe nga emizikiti nebirala

Yye County Director wa Salam Charity Uganda Hajji Abdul Salam Ali Kinobe asiimye abo bonna abakyatambudde n’ekitongole kya salam Charity mu kukola emirimu gy’obusiramu wonna muggwanga nasuubiza nti bakusigala nga batambulira kumulamwa. Omulimu gw’okuzimba masjid ye Nakaloke gutambuddeko naye nga ogukyabulayo gwegusinga obunene.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *