Ba Imaam abasoba mu 50 okuva mu districts 18 babanguddwa mu bukulembeze.
Ba imaam abasoba mu 50 okuva mu district eziwerera ddala 18 bebattikiddwa oluvanyuma lw’ebbanga nga babangulwa mu buweereza n’obukulembeze wamu n’okwongera kuddiini yabwe.
Bano bamaze ebbanga nga babangulibwa kusomero lya Noor Islamic Insititute e’Mbale era nga program eno etekebwamu ssente district kadhi wa wakiso Muslim district council sheik Elias kigozi Nkangi era nga bano be bebasoose okuttikirwa munteekateeka eno.
Omugenyi omukulu kumukolo guno abadde district kadhi wa wakiso era akulira Umoja Helping Hearts Uganda Sheik Elias kigozi Nkangi asabye ba imam bano okusaasaanya obuyigirize bwebafunye okusomesa abalala eddiini yobusiraamu. Abasabye obutatunulira mulimu gwa buwalimu nga ekubo ly’okujjamu sente wabula obuweereza n’okwewaayo kubanga empeera enkulu bajisuubira kuva eri Allah.