Local

Bannamawulire mugume mukole ogwamwe-Allen Mercy

Bannakyewa abatakabanira eddembe lyabannamawulire aba Human rights network for journalists-Uganda bafulumizza alipoota y’omwaka 2022 ekwata ku ddembe lyabanamawulire nga eraze nti poliisi nga bulijjo yekyasinze okutyoboola eddembe lyabannamawulire nga kubikolobero 94 ebyakolebwa, poliisi erinako 42 neddirirwa abantu baabulijjo nebikolobero 16 , eggye lya UPDF 11 , n’abalala.
Bwabadde atongoza alipoota eno ku kitebe Kyabwe e’Bukoto mu Kampala, akulira ekitongole kino Robert Sempala agambye nti okukuba bannamawulire wamu n’okuwamba ebikozesebwa byabwe wamu n’okutiisatiisa bannamawulire okubatta byeyolese nnyo mu alipoota eno nga Kati bannamawulire bangi bakola beekuniza olw’okutya okutuusibwako obulabe.

Mungeri yeemu mu alipoota eno bawadde gavumenti amagezi okuggulawo omukutu gwa Facebook , okukendeeza kumisolo kisobole okussa wansi ebbeeyi ya data wamu,
era basabye Palamenti okwewala amateeka aganyigiriza eddembe lyabanamawulire.
Mungeri yeemu basabye bannanyini mikutu okuyamba bannamawulire nga bafunye obuzibu wamu n’okusitula eddoboozi lyabwe okusobola okumalawo okutulugunyozibwa.

Ate ye Allen Mercy akulira ebyamawulire mu Embassy ya America asabye bannamawulire okubeera abavumu basiggale nga babuulire eggwanga ekyo ekituufu kyebateekeddwa okwogera era nasaba ebitongole bya Nnakyewa okufaayo okulwanirira eddembe lyabanamawulire

Mungeri yeemu Commissioner ku kakiiko akakola ku eddembe ly’obuntu mu gwanga aka Uganda Human rights Commission
Rtd Col Steven Basaaliza yeeyamye kulwakakiiko okwongera okuyimirira awamu ne bannamawulire okukangavula oyo yenna eyenyigira mutyoboola eddembe lyabannamawulire.

Bya Ssewanyana Ali

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *