Education

Minisitule ey’ebyenjigiriza bayitiddwa mu palamenti okunnyonyola ku diguli ezayitako

23RD MAY 2023.

Omumyuuka w’omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu Thomas Tayebwa Bangirana alagidde minisitule y’ebyenjigiriza okulabikako eri Palamenti olunaku olw’enkya ne alipoota enambulukufu ennyonyola kubiyitingana mumawulire ensangi zino nti waliwo amatendekero agasomesa amasomo agaayitako edda .

Kigambibwa nti waliwo amatendekero agawaggulu okuli Makerere university,Kyambogo university n’amalala agasomesa amasomo agagwaako edda ng’era tegamanyikiddwa mu National Council of Education ekintu ekiretedde abayizi okulemererwa okweyongerayo nemisomo gyabwe naddala munsi ez’ebweru.

Bwabadde aggulawo olutuula lw’olunaku olwaleero,Thomas Tayebwa ategeezezza nti singa kino tekisalibwa magezi ngabukyali emberenge eyinza okugaga.

Ye omubaka wa Kalungu west Joseph Gonzanga Ssewungu ayagala ensonga eno eyingizibwe mukakiiko ka Palamenti akebyenjigiriza okwongera okwekeneenya ani mutuufu ani mukyamu.

Nampala w’oludda oluwabula gavumenti John Baptist Nambeshe ayagala akwatibwako ensonga eno avunanibwe era aliyirire abayizi abayonoona obudde bwabwe n’ensimbi nga basoma amasomo agaayitako edda.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *