Dr. Bukenya Muhammad awadde ab’eKayunga Tanka z’amazzi 100.
Wakati munteekateeka y’okubunyisa amazzi amayonjo n’okumalawo ekizibu ky’ebbula ly’amazzi mu Kayunga, District Kadhi wa Kayunga Muslim district council Dr Hafiz Muhammad Haruna Bukenya nga aliwamu n’emikwano gye okuva mu United Arab Emirates nga bayita mukitongole ekya Islamic Center for Education and Research baduukiridde bana Kayunga ne Tanka z’amazzi 100 beddu okuyambako abatuuze mu bitundu bino okubeera n’amazzi agamala.
Amaka g’abawejjere omuli bannamwandu,abakadde, nebamufuna mpola bebaganyuddwa munteekateeka eno.Tanka eziweereddwayo zakika kya Gentex eza litres e 2000 ne Litres 5000.
Bwabadde akwasa abantu tanka z’amazzi zino mugamu kumagombolola agakola Kayunga omuli Nazigo, Bukamba ne Kayunga town council, Hafiz Bukenya abasabye okuzikuuma obulungi.
Mubintu ebilala ebiwereddwayo mulimu endokwa z’emiti ejebibala 600 okusobola okuyambako kunyingiza mu maka gabwe.
Dr Bukenya agambye nti ebitundu nga Kasokwe,Lukoola, Kawongo ne Galilaya byebimu kubitundu ebikosebwa ennyo ekyeeya nga nabwekityo betaaga okufuna tanka ezitereka amazzi okusobola okufuna amazzi agamala.
Dr Hafiz Bukenya asabye abafunye tanka zino obutazitunda wabula bazikozese okunogera ekizibu ky’amazzi eddagala. Asiimye ekitongole kya Islamic Center for Education and Research olw’ekkula Lino eribaweereddwa.
Dr Hafiz Bukenya ono asiimye abakulembeze ba government e’Kayunga ne government ya Uganda olw’okubasobozesa okubunyisa ebintu ebiyamba abantu babulijjo. Dr Bukenya era akubiriza abantu mu Kayunga okukozesa ettaka lyebalina okulimirako emmere ey’okulya n’eyo esobola okuvaamu akasente akanabayambako okweyimirizawo n’okwongera kunyingiza mu maka.
Bya Tenywa Ismail