Politics

Ssente eziweebwa ebibiina by’ebyobufuzi byonna zinonyerezebweko.

Gavumenti eragidde ssababalirizi w’ebitabo byayo okunoonyereza ku ssente ezizze ziweebwa ebibiina by’obufuzi byonna ebiri mu ggwanga okusobola okuzuula nkozesa yaazo

Bino by’ogeddwa sipiika w’eggwanga Anita Annet Among mu nsisinkano gyabaddemu n’ababaka okuva mu ggwanga erya Malawi abakulembeddwamu sipiika w’eggwanga eryo asooka Rt. Hon Madalistsa Kazombo

Among agambye nti ebibiina bino bizze biweebwa ssente okusinziira ku babaka byeryasindika mu palamenti wabula kizuuse nti enkozesa yaazo tegasa kibiina nga bwe kyandibadde.

Ategeezeza nti ku mulundi guno teri kibiina kigenda kuddamu kufuna munnwe gwa nnusu okuggyako ng’ okunoonyerezebwa kumaze okukolebwa.

Ono era, alabudde Ababaka abayosa mu ntuula za palamenti okweddako ng’obudde tebunadda ku bunaabwo bwategeeza nti abamu batera obutazijumbira ate nga ne mu bitundu gyebakiikirira tebabeerayo.

Mungeri ey’enjawulo alabudde abatuula ku kakiiko ke by’enjigiriza ne byensimbi okufaayo okujjumbira enkiiko zaabwe nalaga nti abatatuula bakukangavvulwa obudde bwonna.

Bwabuuziddwa ku ngeri Ababaka gyebayambyemu ebitundu byabwe okukulaakulana annyonnyodde nti mu palamenti ey’omunaana, Ababaka baweebwa nga obukadde kkumi okukulaakulanya ebitundu kyoka abamu nebazirya era bangi ku bbo nebakkomereza nga basibiddwa.

Wano Gavumenti we yasinzidde nereeta enkola eya Parish Development Modle nga ssente zituukira ku bantu mu miruka egy’enjawulo gyebabeera okusobola okwekulakulanya ng’omulimu gw’ababaka baabwe gwa kuzirondoola.

Sipiika Madalistsa, asiimye gavumenti ya kuno olwengeri gyekwatamu ensonga yaazo saako n’okusoosowaza abakyala mu buli nsonga.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *