Dr. Hafiz Bukenya agabudde bana Kayunga n’ente 100, endiga 500
Omukulembeze wa district y’obusiramu eya Kayunga Bugerere Dr Hafiz Muhammad Haruna Bukenya asakidde abantu be bana Kayunga gyabakubidde enkata ya Eid Al Aduha ey’okusala ebisolo.
Dr Hafiz Muhammad Haruna Bukenya bwabadde akulembeddemu okusaaza Eid Aduha kukisawe kye Kangulumira asabye abasiraamu okwesiga n’okukulembeza Allah mubuli kyebakola wamu n’okugondera amateeka g’ediini busiramu. Ono abasabye okwejjamu omuze gw’obukodo kubanga kumalawo emikisa.
Oluvanyuma lw’okusaala eswala ya Eid Dr hafiz Bukenya akulembeddemu omulimu gw’okusala endiga 250 kusisawe e kangulumira abantu abetavu basobole okufuna kunyama wamu n’okutukirza ekilagiro kya Allah kyeyatuma Jajja w’abakkiriza Nabbi Ibrahim Aleihi salam. Dr Hafiz Bukenya takomye okwo era agabidde amatwale agakola district y’obusiramu eya kayunga endiga endala 250 ez’okusalira abantu abetaavu n’ente 100
Dr Hafiz Bukenya agambye nti kino akikoze okusobola okukwasizaako abantu bonna abetaavu kulunaku lwa Eid awatali kusosola Bantu mukikula kyabwe oba ediini zabwe.
Abantu abawereddwa enyama eno kuliiko abetaavu, bamulekwa,banamwandu,abakadde,bakateyamba,ba imam, n’abalala.
Hafiz Bukenya yeyamye okusigaala nga asakira abantu be okusobola okufuna kubulamu obulungi nasaba abantu abenjawulo okuyambako abantu be Kayunga kubanga eby’enfuna byabwe sibirungi nga mulimu nabalemererwa okufuna eky’okulya okumala olunaku olulamba olw’obavu obungi.
Ajjukiza abasiramu okubeera abawulize eri ababakulembera kumitendera gyonna kubanga yenjigiriza y’obusiramu. Abasabye okufaayo okulabirira abantu babwe mu busobozi obuliwo.
Dr Hafiz Muhammad Haruna Bukenya Bwatyo abasabye okwekuuma ennyo nga bali wamu n’abebyokerinda mubintu byabwe kubanga obumeyi bw’amateka bweyongedde nnyo mu ggwanga nasaba government okusitukiramu kuttemu lino n’obumenyi bw’amateeka.
Bya Tenywa Ismail.