Dr. Swaibu Kaggwa Nsereko ne mukyalawe batikiddwa degree eyokusatu
Hon. Dr Swaibu Kaggwa Nsereko wamu ne mukyalawe Dr Aisha Naiga batikiddwa degree eyokusatu eya PHD okuva ku University eya Khartoum mu Sudan, bano bakuguse mu Communication science. Dr swaibu kaggwa nsereko yemuwabuzi wa president wa jeema ku nsonga z’amawulire owokuntikko era eyavuganyaako kubwa mp owa Busiiro North.
Akabaga akwokwebaza Allah olw’ekyengera kino kyebatuseeko bakakoledde mumaka gabwe e Kasangati Kyankima mu district ye Wakiso.
Akabaga Kano ketabiddwako Hajji Muhamad Katerega ssabwandiisi wa Jeema,sheik siraje kifampa ssentebe wa Jeema mu Kampala,Kizza Zefania Sseninde omubaka wa president ku UNNA, abakulu okuva kulukiiko lwa district y’obusiramu eya Wakiso muslim district abakyikiridde district kadhi Sheik Elias Kigozi Nkangi.
Hajji Muhammad Katerega akubiriza abantu okunyiikira ennyo okusoma nasiima ne Dr. Swaibu Kaggwa ne mukyalawe okwerekereza nebasoma okutuuka kukitiibwa kyobwa Dr.
Dr Swiabu Kaggwa Nsereko asiimye nnyo Allah olwekkula lino lyebatuseeko nasiima ababereddewo mulugendo luno nasaba abavubuka obutenyooma kuba buli kimu kisoboka.
Dr Swaibu Kaggwa Nsereko munamawulire omutendeke,musomesa omutendeke era asomeseza ku tendekero ly’obusiramu erya IUIU,musubuzi,munabyabufuzi,mulimi nemirimu emilala.