Ebadde Multazam yeyubudde kati ye Maqam Travels.
Kampuni esaabaza abantu okubatwala kumikolo gya hijja ne Umrah eya Multazam travels yeyubudde bwekyusiza elinnya nga kati efuuse Maqam Travels okwongera okuwereza bakasitoma babwe obulungi.
Kampuni eno kati ekunukiriza okuweza emyaka ebiri nga ewereza bana uganda. Omukolo gwokukyusa elinnya guno bagukoledde ku Sheraton Hotel Kampala mukusiibula abalamazi abawerera ddala 56 abatambudde nabo kumikolo gya Umrah ya December 2023 mu ggwanga lya Saudi Arabia e Makkah ne Madinah ng’eno bakumalayo ennaku kumi beddu.
Bano basitudde akawungezi k’olwomukaga okwolekera e Saudi nga bakusookera Madinah n’oluvanyuma badde e Makkah okola emikolo gya Umrah mubutongole. Aba Maqam Travels bagendedde kunyonyi ya Emirates.
Omugenyi omukulu kumukolo gwokusibula abalamazi ba Maqam Travels abadde ssenkulu wa Salam Tv ne Salam Charity Al hajji Dr. Abdul Karim Kalisa nga ono mububaka bwe asiimye abatandiisi ba kampuni eno olw’okukuuma omutindo mubbanga ettono lyebakamala mukisawe kyokusabaza abantu n’okwanguyiriza banna Uganda emikolo gya Hijja ne Umrah.
Asabye abali mumulimu gwokusaabaza banna Uganda okubatwala e Makkah ne Madinah okulembeza amazima nobwesimbu kubanga eno Ibadah.
Omu kubakulira Maqam Travels Sheik Omwatikirivu Sheik Shafiki Babu Mafo asiimye ababatekamu obwesige okutambula nabo nabasubiza nti sibakuddiriza mubuwereza. Agambye nti bakulembeza nnyo okuwa obuwereza obulungi eri abalamazi ba Allah n’okubanguyiriza emikolo, ono era agambye nti okweyubula kuno okuva ku Multazam okudda ku Maqam travels bakikoze okwongera obuwereza obulungi eri bakasitoma babwe nabasaba okubesiga ebbanga lyonna.
Omukolo guno gwetabiddwako imam Ahmada sulaiman kyeyune asabye abagenda e Makkah okumanya obukulu bwebifo byebagendamu nokuyitiriza okwenenya nokwesabira ennyo. Sheik Bruhan Muhusin Kiti akakatadde abalamazi okwawula Allah mubw’omu bwe nokunyikira okutendereza ennyo Allah kubanga ebifo byebagendamu byankizo nnyo.
Maqam Travels era etongoza enkola gyetumye Sonda Mpola nga muno abagala okugenda e Makkah kumikolo gya Hijja ne umrah mwebasobola okusonda ssente zabwe mpola mpola paka lweziggwayo oli nasobola okutukiriza ekilooto kyogenda kunyumba ya Allah.
Bya Tenywa Ismail