Politics

Ekkolero lya Tukutuku litongezeddwa mu Uganda.

Minister Minsa Kabanda agguddewo kampuni ya piki eya Kevla.

Minister wa Kampala n’emirirano Hon. Hajjat Minsa Kabanda agguddewo kampuni ya piki piki ne Tukutuku mu Uganda eya Kevla Company Ltd n’omulanga eri bamusiga nsimbi okwongera okuwa emirimu bannansi. Minister ono akyikiriddwa meeya w’egombola yomukulu w’ekibuga Salim Uhuru Nsubuga wamu n’omuyambi wa minisita wa Kampala Kamukama Dickson.

Minister Minsa agambye nti gavumenti yayisa dda ekiragiro eri bamusiga nsimbi bonna abava emitala wamayanja okusosowaza bana Uganda mukugaba emirimu mu kampuni zebaba batandise kuno kyongere okuwa banansi omwaganya n’okukendeeza ku bbula ly’emirimu mu bavubuka. Agambye nti abo bonna abanaziimula ekiragiro kya gavumenti kino bajja kukangavulwa.

Omukolo guno guyindidde kukitebe Kya Kevla company Limited ekikulu mu Uganda ku sir Apolo Kagwa Road mu Kampala,company eno yaba china nga esinziira mu kibuga Guangzhou nga emaze emyaka etano (5) Uganda nga epanga piki piki za Kevla nebupiki obukozi bwe mirimu obwa Tuku tuku nga bazipangira wano mu Uganda nebaziguza bana Uganda.

Sylivia Long managing director wa kevla agambye nti mukisera kino basobodde okuwa bana Uganda abawerera ddala 36 okuva kwabo ababiri bebatandika nabo mu mwaka gwa 2018 era nga bakwongera okuwa bana Uganda emirimu nasiima gavumenti ya Uganda olwokubakiriza okolera mu Uganda era nga agambye nti piki zino bazitunda mu mwanga nga Kenya,Uganda,Tanzania,newalala era sibakuddiriza mumutindo.

Shiek Elias kigozi ambassador wa Kevla company mu Uganda asiimye nnyo bana Uganda abaguze piki za kevla era bonna abazikozesezako bawa obujulizi nti nnungi ddala era piki nkozi nga kwotadde ne Tuku tuku zabwe. Company ya kevla ewadde hajjat shania kigozi pikipiki ey’obwererere nga kasitoma wabwe asinze okubawagira ebbanga lyonna.

Omukolo guno gwetabiddwako Sheikat Radhia Namakula Secretary wabakyala babavubuka ku Uganda Muslim Supreme Council, Hajjat Shania Kigozi country Director wa One Ummah Uganda, omuyambi wa minisita wa Kampala Kamukama Dickson, Dr Hajji Jamilu Sebalu munabyanfuna nabalala.

Bya Ismail Tenywa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *