ENONGOSEREZA MU TEEKA LY’OBUFUMBO ZIJJA, ABAFUMBO MUBEERE BAGUMU
Nga uganda yegatta kunsi zonna okukuza olunaku lw’amaka olubaawo buli nga 15th omwezi ogwokutaano buli mwaka, ababaka ba palamenti abegattira mu mukago ogukola kunsonga z’amaka ogwa parliamentary Forum on family affairs ,balangiridde ngabwebali kumitendera egisembayo egy’okumaliriza okukola enongesereza muteeka erirungamya obufumbo erya Marriage bill okusobola okulabanga bawa ebbeetu abafumbo okweyagarira nokufuna mubufumbo bwabwe.
Bano nga bakulembeddwa ssentebbe w’omukago guno era omubaka omukyala owa district ye Tororo Sarah Opendi mulutuula lwabamawulire lwebatuziza ku palamenti , bategezeza nti singa eteeka lino limalirizibwa neliyisibwa, ebizibu ebiri mubufumbo byakulinyibwa kunfeete.
Kinajukirwa nti mumwezi gwa July omwaka oguwedde 2022, omubaka ono Sarah Opendi yaweebwa ekyanya okugeenda okunonyereza kunongosereza ezilina okutekebwa muteeka lino noluvanyuma akomewo mu palamenti ayanjje enongesereza zebagaala okukolamu.
Eteeka lino erya Marriage bill, ligendereddwamu okutaasa abakyala ababadde mubufumbo bwakawundo kakubye eddinisa, ensonga yengabana yebintu,omutemwa kubamulekwa nensonga endala nyingi.
Kati omubaka ono Opendi awadde esuubi nti singa eteeka lino limalirizibwa okukolebwamu enongesereza kyakuyambako okumalawo obutabanguko mumaka ng’era asabye gavumenti okukola ekisoboka kyonna okussa munkola amateeka Palamenti gebeera eyisizza okukendeeza obumenyi bwamateeka mu ggwanga.
Ye omubaka Omukyala owa district y’eKiboga Kaaya Christine Nakimwero ngatujaguza olunaku luno asabye abafumbo okunnyikiza okukuuma obutonde mumaka kisobozese emiti emito okufuna ekyokulabirako ekirungi.
Bya Namagembe Joweria