Local

Ensimbi ez’okuzimba n’okuddabiriza enguudo zongezebwe.

16/5/23.

Namutikwa w’enkuba abadde afudemba gyebuvudeko mu ggwanga aviirideko enguudo nyingi okwononeka nga olubadde lukyasembyeyo lweluguudo lwa Kalungu ne Masaka olwabotoka sabiiti ewedde nga entabwe yava kumugga okubooga olutindo nelukutuka .

Bino byebimu kubiwaririzza sipiika wa palamenti Anita Among okutegeeza palamenti nga bwetekeddwa okuyisa ensimbi ezimala okudabiriza nokuzimba enguudo mu ggwanga mumbalirira yebyensimbi 2023/24 .

Ono okwogera bino abadde aggulawo olutuula olwaleero nga agamba wadde nga ensimbi mukaseera kano ziyinza okuba nga teziriiwo bbo nga palamenti batekeddwa okuyisa ensimbi zino government enakola ogwayo okuzinonya.

Ababaka abenjawulo bagamba ekitingole ekizimba enguudo ekya UNRA okulemererwa okuzimba engudo entono mu bitindu ebyengyawulo kyekiviriddeko obuzibu nga amakubo amanene wegononeka emotoka zisanga akaseera akazibu kubanga amatono gali mubeera mbi.

Wano minister omubeezi eweby’obusubuzi namakolero David Bahati ategezeeza palamenti nga entuula wakati wa ministry yenguudo , ekitingole Kya UNRA ne sabaminista robinah nabanja zatandise dda era nga waliwo n’ensimbi ezafuniddwa okusobola okudabiriza enguddo zino mu bwangu.

Sipiika Annet Anita Amongo ategezeza nti obutonde busanyiziddwawo nnyo wabula nagamba nti kyekiseera palamenti ebeeko kyekola mu kifo kyokwekubagiza nga wano wasinzidde nalagira ababaka buli omu okusimba emiti bwebanaaba bagenze mu luwummula olunaatera okubaawo.

Alipota eyonkomeredde esuubirwa okuletebwa olunaku olwenkya okuva mu ministry ye nguudo eraga webatuuse kukugonjoola ku kizubu ky’enguudo mu ggwanga .

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *