Ensimbi ezaalina okuweebwa ebibiina by’obwegassi baazibbira mu bikutiya
30th September 2023
Akakiiko ka palamenti ak’ebyobusuubuzi kalaze nga alipoota ekwata ku nsonga z’ensimbi ezaalina okuweebwa ebibiina byobwegassi ziyite cooperatives bweyandikeerewa okufuluma oluvanyuma lwokukizuula nti wakyaliyo emigozobano mingi okuva mubitongole bya gavumenti nabantu abakwatibwaako ensonga eno bebakyanonyerezaako nga nekisinze okubewunyisa ababba ensimbi zino bazitwariranga mubikutiya okugenda okugabana.
Akakiiko Kano kamaze akabanga nga kanonyereza ku nsonga eno eranga sabiiti eno bajjimazeeko nga basisinkana abakungu okuva mubitongole ebitali bimu wabula nga ensisinkano zino zibadde tezikirizibwaamu bannamawulire.
Kinajjukirwa nti gyebuvudeko, Sipiika wa palamenti Anitah Annet Among yalagira akakiiko Kano okunonyereza ku nsimbi obuwumbi obusoba mu 164. ezayisibwa palamenti mumwaka gwa 2016 okuyambako ebibiina byobwegasi okwebbulura oluvanyuma lwokuzulibwa nti ebimu kubibiina bino tebifunanga kunsimbi zinno.
Kati oluvanyuma lw’ensisinkano zino, ssentebbe wakakiiko kano eranga yemubaka wa palamenti akiikirira abantu be Mbarara city south, Mwine Mpaka olwa leero ayogeddeko nebannamawurire ku palamenti nategeeza nti buli lukya babaako ebipya byebazuula nga nekisinze okubewunyisa abantu ebitundu 30% tebafunangako nsimbi zinno.
Mpaka agamba okusinziira kubyebakazuula, waliwo abanene okuva mu gavumenti abagambibwa okuba emabega wokubulankanya ensimbi zino wabula bo nga akakiiko sibakuttira muntu yena kuliiso bakugeenda mumaaso nokunonyereza kwaabwe.
Mwinne Mpaka era ayogedde nekunsonga eyagaanisa bannamawurire okuba munsisinkano zino nga kino kyaava kubantu bebasisinkana abaalina okubawa obujurizi obutayagala bannamawulire olw’ensonga zabwe ezitali zimu.
Bya Namagembe Joweria