Politics

Gavumenti erowooze ku bitundu ebyetolodde Kampala okusinga ebirala-Nambooze

Omubaka wa Munisipaali ya Mukono mu lukiiko lw’eggwanga olukulu ngono era nga ye Ssentebe w’akakiiko ka Palamenti akavunanyizibwa ku bisuubizo bya gavumenti (Gavumenti Assurance) Betty Nambooze Bakireke ayagala gavumenti esoosowaze district ezetoolodde ekibuga ky’eggwanga ekikulu mu kugabanya keeke y’eggwanga nti kuba zino zesolozaamu omusolo ebitundu 75 ku buli kikumi (75%).

Omubaka Betty Nambooze okuvaayo kiddiridde okuba nti district y’eMukono gyakiikirira yeemu kwezo ezaamaze edda okutegeezebwa nga bwezigenda okukosebwa mu mpereza omuli okuddaabiriza enguudo okuli n’olwa Kampala-Jinja road oluvannyuma lwa Bank y’ensi yonna okwewera obutaddamu kukombya buyambi bwonna Uganda,olw’eteeka erikugira omukwano ogwebikukujju Uganda lyeyasaako omukono.

Kati mu nsisinkano ne bannamawulire ku palamenti omubaka nambooze agamba nti sikyabwenkanya okubeera nga gavumenti esolooza omusolo omungi ogwenkanidde awo okuva mu district okuli Kampala Mukono,Mpigi ne Wakiso kyokka nga bwegutuuka okubawa ssente ezikola ebintu nga enguudo gavumenti yekulula nebajukiza banka yensi yonna kyagambye nti gavumenti kennyini yeyandyeteeredde ssente mu kuzimba enguudo zaazo ku kifo kyokujuliza abalala.

Omubaka Nambooze agamba kati baatandise nokulowooza nti ngojeeko etteeka world bank lyeyekwasizza, nobutasasula Uganda bwakwongera okugizaalira ebizibu byokufiirwa abagabirizi bo buyambi.

Omubaka Nambooze era ategeezezza nga akakiiko kaakulembera akalondoola ebisuubizo bya gavumenti sabbiiti ejja kaakuyita minisitule evunanyizibwa ku by’ensimbi n’okuteekerateekera eggwanga ennyonnyole ku ngeri gy’egenda okukwatamu ebisuubizo mu kiseera kino nga obuyambi okuva mu bank yensi yonna tebukyasuubirwa nokubawabula bwebayinza okukozesa emisolo gyawano oba amakubo amalala.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *