Gavumenti esabiddwa okusomesa abantu baayo okwetangira akawuka akaleeta mukenenya
Wakati nga gavumenti ekyanoonya amakubo aganayitwamu okumalawo akawuka kamukenenya mu ggwanga ,esabiddwa okwongera okusomesa banna Uganda okwettanira akapiira kakalimpitawa ebirunji ebikalimu saako nengeri abantu gyebasobola okukakozesamu kino kiyambeka babayambeko okwetangira akawuka akaleeta mukenenya saako nendwadde endala ez’ekikaba.
Bino webijidde nga omuwendo gw’abantu abakozesa obupiira bukalimpitawa guli wansi nnyo wogerageranya nogwo gavumenti gweyagala okubeera nga bakozesa obupiira buno okusobola okwetangira edwadde zinamutta.
kinajukirwa nti gavumenti eyagala abantu ebitundu 90% ngabakozesa obupiira bukalimpitawa wabula nga okusinziira kukunonyereza okwakulebwa abasawo abakugu kulaga nti abaami ebitundu 57% beboka ababukozesa ate ebitundu 37 % bebakyala ababukozesa, nga ate bo abavubuka abali wakati wemyaka 15-24 ebitundu 47% bebakozesa obupiira buno olw’esonga zabwe nga abantu omuli okugamba nti obupiira buno bakola size ntono ddala , abamu bagamba tezituukana namutiddo n’esonga endala ekintu ekyiretedde obulwadde okusigala nga bwegirisiza mu ggwanga saako nabamu okuzaala abaana ngatebetegese.
Kati wano akulira emirimu mu nsonga zokukozesa obupiira bukalimpitawa okuva mukitongole ky’ebyobulamu Dr. Boniface Epoku waviirideyo nawa gavumenti amagazi okwongera okusomesa abantu kunkozesa y’obupiira era nasaba banna Uganda okubwettanira kubanga bulunji mukutangira edwadde saako nokufuna embuto zebatetegekedde.
Dr. Boniface Epoku bino abyogeredde munsinsikano jabademu nabamawulire abasaka amawulire gebyobulamu nga olukungaana luno luyindidde wali ku office zekibiina ekibagata ekya HEJUN ekisangibwa e Kamwokya.
Bya Bulyaba Hamidah