Local

Gavumenti tefudeeyo kubakozesa obubi emundu.

Aboludda oluwabula gavumenti mu palamenti balazze okutya olw’enkozesa ye mundu embi esusse mugwanga nayenga gavumenti yefudde kyesirikidde

Kati bano baagala alipoota enambulukufu okuva eri poliisi wamu neggye lya UPDF saako ne minisitule y’ensonga zomunda kunkozesa yemundu embi mu ggwanga .

Bano mulukungaana lwabannamawulire lwebatuuziza ku palamenti olunaku olwaleero, bagamba ekirala ekyenyamiza zekkamera gavumenti zeyateekamu ensimbi empitirivu ng’era zaatekebwa mu bifo byeggwanga ebyenjawulo tezirina kyezikoze ngate abamenyi bamateeka bakyaayinayina nokwongera okulumya bannansi.

Kino wekijjidde nga mukiro ekyakeesa olwomukaaga lwa sabiti ewedde waliwo esomero elya Lhubiriha secondary school erisangibwa e kasese eryalumbiddwa abazigu abateberezebwa okuba aba ADF era okukkakana nga abayizzi 45 batiddwa atte abalala nebabuzibwawo nganabandi bakyapookya nabisago mu malwaliro .

Ababaka bano nga bakulembedwamu minister webyokwerinda kuludda oluwabula gavumenti eranga yemubaka wa Mukono north Abdudallah Kiwanuka Mulima Mayuuni bagamba ekyokukozesa obubi emundu mu ggwanga kisusse nga Kati emyaka kumi egyediringana bino bizze byeyoleka muggwanga, bwatyo nasaba bekikwatako okukola ekisoboka nga emberenge tenagaga

Ono era assabye bekikwatako okusasula abakuuma ddembe mubudde ensimbi ezigasa basobole okukola obulungi omulimu gwokutebenkeza eggwanga.

Ye Minisita w’ensonga zebweru kuludda oluwabula gavumenti ng’era yemubaka akiikirira abantu be Kyadondo East Muwadda Nkunyinji asinzidde wano nanenya ekitongole kyebyokwerinda okwesuulirayo ogwanaggamba kukulabula kweyakola ngabayeekera tebanalumba bayizi be Kasese ng’era ayagala gavumenti bunnambiro eliyirire abo bonna abakoseddwa.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *