Politics

Gavumenti yasindika abantu 10 bokka mu America, 61 bakyetwala – Hamson Obua.

Gavumenti esambazze ebizze biyitingana nti yasindika abakungu ba gavumenti 71 okukiikirira bannayuganda mu lukungaana lwamawanga amagatte(UN) olwali luyindira muggwanga lya America mukibuga New York kyagambye nti bo baasindika abantu kumi (10)bokka kulugendo olwo.

Bino byogeddwa Nampala ga Gavumenti Hamson Denis Obua bwabadde annyonyola bannamawulire ku Palamenti kubituukiddwako mu nsisinkano omukulembeze weggwanga Yoweri Kaguta Museveni gyabaddemu nababaka ba palamenti abe NRM oluyindidde mumaka gobwa pulezidenti Entebe.

Hamson Obua agamba nti omumyuuka womukulembeze weggwanga Jessica Alupo abanyonyodde nti gavumenti yalina bajeti yabakungu kkumi bokka ng’era beyatwala ngabo abagamba nti yatwala abakungu 71 babasibako matu gambuzi kubaliisa Ngo.

Mungeri yeemu Obua anokoddeyo ensonga endala ssatu omukulembeze weggwanga zasimbyeko essira ngamuno mulimu okumukwasizaako okulwanyisa obuli bwenguzi ng’era alagidde minisita webyensimbi nokuteekerateekera eggwanga mubbanga lya Ssabiiti bbiri okukola enongosereza mutteeka elirungamya kukuwola ensimbi naddala akawaayiro akalungamya kumagoba agajjibwa kumuntu abeera yeewoze ensimbi.

Omukulembeze weggwanga era asazeewo nti oluva kubikujjuko byamenunula (independence)nga mwenda omwezi ogujja ababaka ba palamenti abakabondo ka NRM bagenda kutwalibwa mulusirika e kyankwanzi bongere okubabangulwa kubukulembeze nobukodyo bwebalina okukola okusobola okutuusa obuweereza eri abantu .

Obua bwabuziddwa ekizza ababaka mulusirika ngate bakaluvaamu,amwanukidde nti ensisinkano zino zibayamba nnyo mubuwereza bwabwe eri eggwanga ng’era bwewaberaawo obwetaavu okugenda mulusirika tebalina nsonga ebagaana.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *