Politics

Aba DP balaze kyebazzako oluvanyuma lwa kooti okugoba Mao.

28th September 2023.

Ababaka ba palamenti ab’ekibiina kya Democratic Party abekiwaayi ekiwakanya obukulembeze bwa Nobert Mao nebanne bawadde olunaku lwa mande sabiiti ejja nga lwelunaku lwebagenda okulangirira ekibiina kyekizaako oluvanyuma lwa kooti etaputa ssemateeka okusazaamu obukulembezze bwa Nobert Mao nebanne ngokulonda kuno kwali mubitundu bye Gulu.

Kuntandikwa ya ssabiiti eno, kooti ya ssemateeka yavudeyo neewa ensala yaayo kumusango ogwawaabwa munakibiina Kya DP Ben Kiwanuka nga awakanya okulonda kwobukulembeze bwa Nobert Mao nolukiiko olufuzi olwa DP olwobutagoberera mateeka gakibiina kino ng’era kkooti bwetyo yakawangamula nti tabamiruka wa DP eyatuula e Gulu mwebarondera president wekibiina Kya DP Nobert Mao nebanne bakulembera yatuula mubumenyi bwamateeka ng’era buli ekyakolebwayo kyali kikyamu.

Kati olwaleero ababaka bano okubadde omubaka wa Buikwe south Dr Lulume Bayigga, omubaka wa Mukono South Fred Kayondo nabalara besozze akafubo ku palamenti akatakiriziddwamu bamawulire nebabaako ensonga zebakanyaako kungeri bwebageenda okugonjoola ekizibu kyobutaba nabukulembeze mukibiina kyabwe Oluvanyuma lwa kooti okugoba ababaddeko.

Oluvanyuma lwakafubo Kano twogeddeko nomubaka wa palamenti akiikirira abantu be Mukono south era munakibiina Kya DP Fred Kayondo era natutegeza nti kubimu kubisalidwaawo kwekuyita banakibiina kya DP bonna mugwanga naabo abagariza DP ebirungi olunaku olwa mande okubegattako ku Hotel ya Pope Paul Mu Ndeeba bamanye kyebazzaako.

Omubaka ono Fred Kayondo era awadde obukulembeze bwa DP obuliwo nabo okujja munsisinkano eno okulaba kyebayinza okuzaako engeri gyekiri nti nabo bagobeddwa.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *