Gerald Siranda owa DP ayiseemu okukiika mu palamenti ya East Africa, owa FDC tayiseemu.
Aboludda oluwabula gavumenti mu palament bayitidde kulugwanyu obutafuna mukiise mu palament yamawanga amagatte eya East Africa oluvanyuma lwokufana obuwanguzi bwamuntu omu okuva mukibiina Kya Democratic Party Gerald Siranda afunye obululu 233 wabula nga ono kabuze katta bamukubbe busu.
Kinajukirwa nti uganda erina ebifo mwenda byoka mu palament eno eranga abantu 28 bebadde mulwokano luno.
Abajidde ku kaadi ya Nrm babadde mukaaga, Upc omu, fdc omu, DP omu, Jeema omu saako nabajidde kubwanamunigina abatalina kibiina kyona kuminamunaana(18)
Abalangiriddwa kubuwanguzi kuliko Akol Rose Okullu afunye obululu 422, Namala Denis 415, Kakooza James 405, Odong George Steven 403, Musamali Paul 401, Mary Mugenyi 467, nga bano bona banakibiina Kya nrm, Gerad Silanda Munna DP ayisemu nobululu 233, saako nabatalina kibiina kwebajidde kuyiseeko babiri okutukiriza omuwendo gwabantu omwenda era kubano kuliko Kadogo Veronica Babirye ngono ayisemu nobululu 383 era ono akutte kifo Kya mukaaga, saako ne Jackline Amongin ngono ayisemu nobululu 338 era bano balangiriddwa mulutuula lwa palament.
Kubabaka 529, ababaka 495, bebalonze newankubadde nga obululu kuminakamu(11) bufudde era okulangilira kuno kukoleddwa Omukubiriza wolukiiko lwegwanga olukulu Annet Anitte Among.
Abatasobodde kuyitamu kuliko Munnakibiina Kya UPC fred Ebil, Harold Kaija FDC, Muhammad Kateregga owa Jeema, ate kubamunigina kuliko Julious Bukyana, Denis Kapyata, Daniel Muwonge, Stella kiryowa, phiona Rwandalugali, nabarala.Sipiika oluvanyuma akubiriza abalondeddwa okukolera abantu nokussa munkola ebyo ebibatumiddwa.
Kinajukirwa nti ekibiina Kya National Unity Platform kyazira okulonda Kuno nga kyesigama kubwanakyemalira obujudde mukalulu kano oluvanyuma lwekibiina Kya nrm okuba nomuwendo ogusinga obunji era bano teri yadde nomu alabiseko webalondera..
Bya NNamagembe Joweria