Politics

Enguumi enyoonse mu Kalulu aka bakiise abanakiikirira Uganda mu palamenti etaba amawanga g’obuvanjuba bwa Africa EALA

Enguumi enyoonse mu Kalulu aka bakiise abanakiikirira Uganda mu palamenti etaba amawanga g’obuvanjuba bwa Africa EALA. enkya ya leero abantu abenjawulo abakunukiriza mu 30 batandise okusaba obuwagizi okuva mu bakiise mu lukiiko lw’eggwanga olukulu nga bano beetekerateekera okulonda okugenda okubaawo olwa leero, wabula bino bibadde bigenda mu maaso ate newabalukawo oluyogaano omubaka Alioni Yorrke odria owa Alinga south najja nakabookisi akalimu obululu nga Ono azze ayogerera wagulu nga bwebatagya kukkiriza kubba bululu, wabula ono kimukaalubiridde okuyingiza akasanduke mu kifo awateesezebwa oluvanyuma lwa bakuuma ddembe okumubuukira nebakamujjako era nebakatwaala mu kifo ekitategeerekese.

Ekituuse ku mubaka kimuwalirizizza okwanja mu palamenti, wabula omumyuuka w’omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu Thomas Tayebwa nga yabadde akubiriza olutuula ategeezezza nga mukamaawe bweyakkiriza abamu ku babaka okulonda nga bukyaali , wabula kino tekimattiza babaka era n’alagira kalaani wa palamenti okumuleetera akatambi kaamukamaawe ng’awa olukusa abantu okulonda nga bukyaali .

Omubaka Alioni tamatidde era nafuluma wabweru nga akyawera nga bwebatajja kukkiriza kubba kalulu era atuuse mu kifo awategekeddwa okulondera n’alagira abasirikale okujjamu obululu obuli mu bu sanduuke obulala obusatu .

Ekibaddewo kiwalirizza ab’eby’okwerinda okwongera amaanyi mu bukuumi ku lukiiko lw’eggwanga olukulu, wetuwandiikidde eggulire lino nga abaagala okukiikirira Uganda mu palamenti y’obuvanjuba bwa Africa bakyagenda mu maaso n’okunoonya obuwagizi era okulonda kwa kawungeezi ka leero.

Bya JJoweria Namagembe

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *