Inalilahi wa’inailahi rajiun

Abaana 11 bafiiridde mu nnabbambula w’omuliro ogukutte essomero ly’abaana ba muzibe erya SALAMA School for the Blind e Luga mu muluka gw’e Ntanzi, Ntenjeru Kisoga Town Council mu district y’e Mukono.
Omumyuka w’omwogezi wa poliisi mu Kampla n’emiriraano Luke Owoyesigyire agambye nti abaana abalala 6 baddusiddwa mu ddwaliro Herona Hospital nga bataawa.
Owoyesigyire ategeezezza nti omuliro guno gukutte ku ssaawa nga musanvu ez’ettumbi era batandikiddewo okunoonyereza ku kiviiriddeko omuliro guno.