Politics

Minisita Namuganza asiimye emirimu gya sheik Kigozi mu Wakiso.

Minisita omubeezi ow’amayumba Ettaka n’enkulakulana y’ebibuga omumbejja Hon. Persis Namuganza asabye bananyini masomero gonna okwongera okuteeka munkola ebiragiro bya gavumenti munkola, omuli okutekawo ebiyambako okuzikiza omuliro n’okusuza abayizi obulungi.

Minister era atendereza nnyo District Kadhi wa Wakiso Sheik Elias Kigozi Nkangi olw’enkulakulana gyagasse ku ggwanga naddala mu kitindu kya Wakiso.

Minister Namuganza okwogera bino asinzidde mu Ssaza lya Busiro e’Mende mu Wakiso bwabadde aggulawo esomero lya Al-Madinatul Munawara Islamic secondary school mu butongole e’Mende Wakiso. Esomero lino lyazimbibwa district Kadhi wa Wakiso Muslim district Sheik Elias Kigozi Nkangi nga ayambibwako mikwano gye okuli Sheik Abdallah Minshar.

Hon. Persis asiimye nnyo sheik Elias Kigozi olw’omulimu gwakola ogw’okutumbula ebyenjigiriza nokuddukirira abalina obwetavu namusuubiza nti gavumenti yakwongera okutambulira wamu naye nasaba amasomero gonna okuwa abantu obuwereza obulungi okutumbula ebyenjigiriza byeggwanga.

Director w’amasomero ga Al-Madinatul Munawara Islamic schools Sheik Elias Kigozi agambye nti ekyamutandisa amasomero gano kwekulaba nga abazadde abawejjere nabayizi abataliiko mwasirizi bafuna ebyenjigiriza ebyomulembe.

Asabye gavumenti okwongera okwasizako amasomero g’obwananyini naddala nga esala omusolo kubikozesebwa byebeyambisa mumasomero.

Akalatidde abazadde mubiseera bino eby’oluwumula byetugendamu okukuuma abaana n’okubayigiriza emirimu ejinabayamba mubiseera byabwe eby’omumaso. Asiimye abazadde ababawadde abana ku Madinatul Munawara Islamic schools nabasuubiza okwongera omutindo mubyebakola kubanga kati basajjakudde mubyenjigiriza.

Sheik Kigozi asiimye nnyo minister Namuganza olwokukiriza okuggulawo essomero lino mubutongole wamu n’okutuuka kumuntu wabulijjo munkolaye ey’emirimu era namwanjulira nti esomero lino lisomesa ediini yabusiramu wamu n’ebyoluzungu nga bagoberera amateeka ga gavumenti.

Kumukolo gwegumu n’abayizi ba Al-Madinatul Munawara Islamic primary school E Mende kwebolesereza ebitone byabwe omuli okukuba bandi,okukumba,emizannyo,Quran, ebitontome nebilala wamu n’okuttikira abayizi ba top class.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *