Politics

Mubeere bumu temwawukana-Deputy Mufti Sheik Ssemambo

Omumyuuka wa mufuti wa Uganda asooka Sheik Abdallah Ssemambo Tamusuza asabye abasiramu okufaayo okumanya obukulu bw’abakadde abatuvudde ku maaso wamu n’okubasabira ennyo.

Sheik Ssemambo okwogera bino asinzidde mu gombolola y’eMende mu district y’eWakiso ku mukolo gwo’kusabira omungenzi sheik Wasswa wamu ne shukuru y’okwebaza Allah okusobozesa sheik Hussein Semule okugenda e Makkah ku Hijja nakomawo bulungi.

Sheik Ssemambo ono era akalatidde abasiramu okubeera obumu n’okwagalana kulwa Allah.

Yye district kadhi wa Wakiso Sheikh Elias Kigozi Nkangi mu bubaka bwe asibiridde abantu entanda okubeera abakozi mubuli kimu n’obutanyooma mirimu okusobola okutuuka kunkulakulana n’okusobola okuyimirizawo family zabwe.

Sheik Kigozi ono asabye abazadde okukuuma abaana obutiribiri naddala mukiseera kino eky’oluwumula olwatandiise okwewazisa abaana okugwa mu nsobi ezitagambika.

Bya Tenywa Ismail

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *